0:00
3:02
Now playing: Spacioza

Spacioza Lyrics by Bobi Wine


Dan Magic agambye atya?
Guno gw’akubye ssi gwe mbadde nnoonya
Naye k’ogukubye nze kanguzannyiremu
Sigusuubira kucaaka nnyo
Kubanga guno gwe nkubye
Ssi gwa mirembe gya kati
Mbatutteko mu giri gi P.O. Box
Nga twalina ebiwala mwattu ebitiba bitya!
Nga k’obigendako obubi obeera waakutya
Mbanyumiza omuwala gwe nayagala
Yabeeranga Kamwokya ku Community
Bamuyita Specioza Nantaba
Naye nayagala Spe nze nenserebera
Bwakya lumu ye n’anjabulira
Nemmwegayirira naye nga tabiwulira
Nga ku maviivi nfukamidde
Ng’olwo ndaba ebyange byonna biwedde, eh
Mu mwoyo nga nzenna nsiridde
Yaƞƞamba don’t worry eyo just first feeling

Specioza yankyawa
Naye mu byaddala alinga nga eyannyamba
Singa yali teyankyawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba
Specioza wankyawa
Naye mu ga Katonda mu ggulu gwe wannyamba
Singa wali tewankyawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba

Naddamu okumulaba
Nga eyali Spe tosobola kumutegeera
Ne kennyini teyeetegeera
Ewa Jjajja Ibu mu Kimombasa eri eri wansi
Gye nasembayo omusanga
Mwanamuwala yayiga n’okunywa kabanga
Tuli ne bataayi bange
Tuli mu swagger tunywa na byaffe tuteredde
Yekazizza asembedde
Akutte n’entebe ssebo olwo naye akkalidde
Olwo ndowooza ng’alaba musaana
Ko nze gundi leka tonkuba bikadde
Nemmusomera byonna kuva ku bya Jimmy
We wanjagalira wali otukyanga ne Chagga
Baakumpisangako mu Short Pajero
Nze nembonaabona ekiro nga nkaabira pillow
Ne ƞƞamba nti sikyalya lwa ggwe
N’oƞƞamba don’t worry eyo just first feeling

Specioza yankyawa
Naye mu byaddala alinga nga eyannyamba
Singa yali teyankyawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba
Specioza wankyawa
Naye mu ga Katonda mu ggulu gwe wannyamba
Singa wali tewankyawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba

Kati nalaba ekkubo
Baali batuufu akugoba y’akulaga ekkubo
Bw’akulekawo gwe fuba kulaba ng’okola
Luliba olwo n’osisinkana asaanira embaga
Gwe manya nti omuntu bw’akukyawa oba okalidde
Bwe kaba nga obadde kataala oba ozikidde
Bw’akukyawa n’olemerako oba wefudde na ffala
Okwagala okkaka omukwano kikubya yala
Byantuukako luli mu biseera bya ‘aso’
Kyenva mbiyimbako mbabuuse baana ba ssebo
Gw’okaabira ng’amaze okukyawa
Oyinza okusanga nga gw’abadde alina omukyawa
N’olwekyo sirika tokaaba
Nze gamba don’t worry eyo just first feeling

Specioza yankyaawa
Naye mu byaddala alinga nga eyannyamba
Singa yali teyankyaawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba
Specioza wankyaawa
Naye mu ga Katonda mu ggulu gwe wannyamba
Singa wali tewankyaawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba

Bobi Wine Songs