Evans
Oba bino mbikole ntya?
Love yo ensudde wala mu bisegguusi
Omutima ogututte nnyo
Sirinaawo mulala wa kulowooza
Kati n’abankwana bannyiiza
Kye nva nasalawo mbaloope ewuwo eyo
Eyo gy’ontwala sigaane naye tomenya Omutima, ontuuse wala
Kino kisaaganda
Ekya love nze bino mbikole ntya?
Essanyu ompadde nnyo
Oluusi liyitirira nze nenkaaba
N’amagezi munnange
Ogamazeemu omukwano guntwala (eh)
Eyo gy’ontwala sigaane naye tomenya Omutima, ontuuse wala
\n
Both
Naye omukwano guntwala (sirinnya)
Ate nga nange sigaane (eeh)
Love ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
(Love yo kisaaganda)
Nange guntwala (sirinnya)
Ate nga nange sigaane (eeh )
Love ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
(Love yo kisaaganda)
\n
Nantume
Luli nga ne bwe ndaba, abaagalana
Mutima muli mba nnumwa
Era ne bye beekoza nze nga binnyiiza
Obw’omu buluma
Ontisse love mwana gwe
Emmenya, eringa mugugu
Toguntikkula ndeka nze
Bwe ngusuula ate mba nnumwa
Nva ntya ku luzzi?
Ate nennoonya ab’obwendo ddalu lyennyini
Kino kisaaganda
Ekya love nze bino mbikole ntya?
Essanyu ompadde nnyo
Oluusi liyitirira nze nenkaaba, aah
\n
Both
Naye omukwano guntwala (sirinnya)
Ate nga nange sigaane (eeh)
Love ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
(Love yo kisaaganda)
Nange guntwala (sirinnya)
Ate nga nange sigaane (eeh )
Love ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
(Love yo kisaaganda)
\n
Both
Jangu eno ondereko
Oba oganye kankaabe
Abalungi ntoko
Ntidde munnange tonjiwa
Eeh, gwe totya munnange watuuka
Ng’oli nange tokaabe
Nga naye nkuleka ntya ng’okaaba?
Mbu ba Naka bantwala, noo
Anti nawulidde beewera
Munnange tebakutwala baby
Bwe bakusumbuwa jangu ondoopere
Ah bali tobafaako bonna mbalimba
Olina kisaaganda
Ekya love nze bino mbikole ntya?
Ddala ndaba olina kisaaganda
Ekya love bino mbikole ntya?
Omutima ogututte nnyo
Sirinaawo mulala wa kulowooza
Gira netuvaawo
Ndaba tuli late
\n
Both
Naye omukwano guntwala (sirinnya)
Ate nga nange sigaane (eeh)
Love ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
(Love yo kisaaganda)
Nange guntwala (sirinnya)
Ate nga nange sigaane (eeh )
Love ondaze nnyingi
Ompa kisaaganda maama nnyabo
(Love yo kisaaganda)