0:00
3:02
Now playing: Amanyi Ga Love

Amanyi Ga Love Lyrics by Damalie Dama


Buwoomi bwa love bunnyinze
Damalie Dama
Amaanyi ga love gantwala
Eddie Dee

\n

Ntidde nnyo n’erinnya nalikyusizza
Obuwoomi bw’omukwano bunsusseeko 
Ono eby’obulimba takkiriza 
Eby’ekiyaaye nabimaze bannange kantuule
Ansimbya bukuukuulu w’aba ansanze 
Yammeza amalala ninga nnyonyi nnyange
Nzijukira olunaku lwali lwa Sunday
Natoloka wa taata nje mmusange
Ono alina ebirungi tommooni 
Simugattika ntiddemu agayaaye tegamutwala 
Buwoomi bwa love bunnyinze eeh
Amaanyi ga love gantwala
Buwoomi bwa love bunnyinze eeh
Amaanyi ga love gantwala aah

\n

Leka nkumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange
Leka nkumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange
Kankumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange

\n

Yeggwe cake
Oli mulungi olagika you’re so smart
Tugende ne ku dinner date wantuuka
Ku mutima wanneeyongeza 
Kati ntambula neeyogeza amaanyi ga love
Gampambye eby’ekiyaaye nabimaze eeh
Kyandiba ekirooto bannange
Anzuukusa alinga ataatuuke
Tuli bumu kayanzi na nzige 
Nakutamiira malwa ku mmandule 
Eky’okukufuna nakufuna nga kirabo 
Nsunasuna omukwano gundi eno mu bulago ooh
Baby (aaah)
I wanna fly away with you tonight, nanana
I wanna fly away with you tonight, nanana

\n

Leka nkumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange
Leka nkumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange
Kankumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange

\n

Mbyogera mbikakasa ebigambo bye nkugamba 
Bya namaddala wulira baby 
I wanna be with you
Day and night, again and again 
It is my promise to you 
Guno omukwano gwa namaddala omulungi sembera
Buwoomi bwa love bunnyinze eeh
Amaanyi ga love gantwala
Buwoomi bwa love bunnyinze eeh
Amaanyi ga love gantwala aah

\n

Leka nkumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange
Leka nkumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange
Kankumbe eby’abalungi bannange
Neejaga butaagaane n’owange

\n

Ibraso