Mukwano nsuubiza ebigambo
By’oŋamba olwaleero bulikya n’obiddamu
Sikyagala ondeete kamwenyu
Ng’ate bulikya n’ondeka
Onkutte ku mukono
Tontanga ne ngwa ku kkubo
Yeggwe eyamponya zero
Omukwano ampeera mu kilo
Ontutte wala nnyo nkusaba tulweyo
Tubeere ng’abakatandika
Manya obulamu bunyuma nnyo nga nkulabako
Omukwano gwo kikajjo kika nnyo ooh
Nsuubiza nsuubiza
Nga bwe kiri kati bwe kirisigala
Era tondeka nnyongera
Tondeka omulungi gwe ndaba
Tonsiibula
Jambo yo egenda kunnumya
Obulamu ogenda buntamya
Ate omanyiizizza laavu yo eno
Bw’olivaawo ndisigala ntya eno?
Buli kimu kigenda kuntama
Wootoli bigenda kunnyiga
Tonsiibulanga oh no
Oh babe
Nkusaba owulire nga mpita
Oyanguwe okumpitaba mba nnumwa
Ndi kamuli k’ofukirira mu nkuba
Oli kisiikirize mmwe neewogoma enjuba
Era kati ninga muto omwana
Ebintawaanya ewuwo gye ndoopa
Gwe watuuka eri ewasemba
Essanyu lyange lyokka lye nina
Ondi ku mutima gwange ku ntobo
Laavu kaserengeto na ddobo
Kasweta kange mu mpewo
Ssuubi lye natungira ensawo