0:00
3:02
Now playing: Term Egeenda

Term Egeenda Lyrics by Hassan Ndugga


Omuntu anaatera okufa yewuunyisa ensi
Era akola bingi ogumya ababaawo
Eyali tatambula ayimuka abiibye!
Abadde talya osanga yeyongeza enva!
Eyali tatambula ayimuka abiiby!e
Abadde talya osanga yeyongeza enva!
N’atumya ku baana n’abalabako
Ne mulowooza nti yawonye musiibulwa enkya
Naye ziba zituuka mu munaana
Ogenda omukwatako nga yasiseewo!
Wamma abasomye munjulire nnyo
Mu biseera by’okuwummula engolo zibaawo
N’omwaka bwe guba guwumbawumba
Bintu biba bingi ebikyukakyuka
E Kayabwe aw’enkumi essatu osasula kanaana!
Ettooke ly’ebbiri oligula kasanvu!
Kitegeeza na bino ebiri mu ggwanga tebibatiisa
Kubanga yandiba term egenda

\n

Abange, eeh
Bino ebiri mu nsi temubifaako
Eno yandiba term egenda
Abavubi obakuba emiggo, eeh
Amaato bagaasa babagoba eyo
Eno yandiba term egenda
E Mubende mwagobwa mu gold mmwe, eeh
Naye nze mbagamba tebibakanga
Eno yandiba term egenda
Abantu obatema ng’ente, eeh
Babaka bawambibwa, abaana battibwa
Eno yandiba term egenda
Emisolo okulinnya, eeh
OTT eyaleetebwa oyo tabakanga
Eno yandiba term egenda
Amafuta gaalinnye era, eeh
Ekyo mbakakasa tuli ku ssaawa
Eno yandiba term egenda
Mobile money oziteekako emisolo, eeh
Bannange tegubatiisa
Eno yandiba term egenda
Oyo akubbira omusajja, eeh
Takuzimbya face gwe muddemu nti
Eno yandiba term egenda
Abayimbi, eeh
Ababakuba enkokola abo temubafaako
Eno yandiba term egenda

\n

N’alima obulungi amala n’annyuka
Essaawa y’okumaliriza aba akabala nnyo
N’alima obulungi amala n’ayinuka
Essaawa y’ommala aba akabala yinho
Wano Saddam Hussein nga yakanga nnyo
Nga buli lukya agezesa emizinga
Ne tukwata ku ttama nti ensi eggwaawo
Kumbe yali ali ku term egenda
Bin Laden ye n’atukanga
N’omulevu gwe nga gukoma eri
Yalina n’empuku wansi ezitiisa
Kumbe yali ali ku term egenda
Wano Hitler yatemula abantu
Wang y’eyali omutemu asinga
Naye we yakolera ettima erisinga
Mwattu yali ali ku term egenda
Idi Amin Dada twamusomako
Nga bagamba sapatu yaziriisa ne banne
Wano Kibwetere yayokya abantu
Kumbe yali ali ku term egenda
Obote ne Binaisa tubasoma nnyo
Be bamu ku baasigala wano mu byafaayo
Y’ono ow’e Gulu oba yabulira wa?
Ŋamba Kony eyatusuzanga ku tebuukye!
Weyakyakira ng’omutemu ennyo
Mwattu yali ali mu term egenda
Bemba Musota ne Mutuulakungo
Ha! Nga baali bazibu nnyo!
Naye webaakyakira okumanyika mu nsi
Mwattu baali ku term egenda
Nammwe abayimbi abampalampa sibatidde
Eno yandiba term egenda
Manager Musa ojunye abayimbi
Naye mpaawo n’akulimba ka show
N’eyakusuubiza okakuwa oyiiye
Yagera wabula nnya ne yekyusakyusa
Naye ebyo tobitya ebigambo byabwe kubanga
Eno yandiba term egenda
Kayiira yayiiya emmotoka n’eyagalwa nnyo
Omutanda yasiima n’agituulamu
Paapa bwe yajja Kayiira era yafuba nnyo
Alabe ng’amuvuga afune obuyambi
Ng’ebye Uganda bwe mubitegeera
Era Kayiira yalemesebwa nnyo
Sso nga kyaali kya kujuna ggwanga
Ne Uganda esomwenga mu byafaayo
Naye ebyo byaliwo mmwe mubiveeko
Kuba nze bwe ndaba kati tuli ku term egenda

\n

Abange, eeh
Bino ebiri mu nsi tebibatiisa
Eno yandiba term egenda
Abatembeeyi, eeh
Mugume ne Jenipher naye yagenda
Eno yandiba term egenda
Oyo aloga emirimu gyo, eeh
Bw’aba akutiisa ng’omugamba bw’oti
Eno yandiba term egenda
Wamma Omubanda wa Kabaka, eeh
Ebyo bye bakola tebikutiisa
Eno yandiba term egenda
Eddy Kenzo nywera, eeh
Abakuwalampa balinde mu zi Award
Eno yandiba term egenda
David mwana w’e Luweero
Katandika butandisi abo tebakutiisa
Eno yandiba term egenda
Natume munnange, eeh
Gamba Stabua ebyaliwo tebimukanga
Eno yandiba term egenda
Producer Meddie Kakensa, eeh
Abakuzalawa tebakutiisa
Eno yandiba term egenda

\n

Abange, eeh
Bino ebiri mu nsi temubifaako
Eno yandiba term egenda
Abavubi obakuba emiggo, eeh
Amaato bagaasa babagoba eyo
Eno yandiba term egenda
E Mubende mwagobwa mu gold mmwe, eeh
Naye nze mbagamba tebibakanga
Eno yandiba term egenda
Abantu obatema ng’ente, eeh
Babaka bawambibwa, abaana battibwa
Eno yandiba term egenda
Emisolo okulinnya, eeh
OTT eyaleetebwa oyo tabakanga
Eno yandiba term egenda
Amafuta gaalinnye era, eeh
Ekyo mbakakasa tuli ku ssaawa
Eno yandiba term egenda
Mobile money oziteekako emisolo, eeh
Bannange tegubatiisa
Eno yandiba term egenda
Oyo akubbira omusajja, eeh
Takuzimbya face gwe muddemu nti
Eno yandiba term egenda
Abayimbi, eeh
Ababakuba enkokola abo temubafaako
Eno yandiba term egenda