Waliwo omwami eyansanga ntudde
Ku bbalaza ewange gye nsula
Nga nsulise omutwe n’ambuuza
Ekintawusa obwongo ekinkubye ennaku
Omusajja teyabeera mubi
N’anamusaako nange ne mwanukula
Nambuuza bwe ndaba ensi eno
Kko nze gireke ensi enyiza bumalirivu
Kko ye nti bbula lya ssente
Ly’eritunuza abantu ng’ababikire
Naye nga k’ozikuŋaanya ne zibeerawo
Ensi obeera ogiwewula
Twayawukanye akimanyi ntino
Bbula lya nsimbi erimpeseewese
Sso nabadde n’ekizibu ekinkulungula
Obwongo baana battu
Era kati kye ndeese
Bwe wabeerawo amagezi tukisalire
Naye omutwe ekigumbobbya
Naawe bw’onooba okirabye ojja kunyiiga
Nze mmanyi okwawulamu
Ebidiba ssisuubula
Gye gino emirembe gye nunda
Manya ekikyamu ne nkiyisa
Ekirungi ne njoola
Gw’onotuga omugwa mu bulago
Tobaka ntumbwe aba akulemye
N’omuzimbi w’ennyumba
Ttooyi agisima bwekusifu
Teba mu bwenyi bwa nnyumba
Awaka owaleetera okuwunya
Mirembe abato n’abakulu
Abakyala n’abaami
Nze Basudde w’eggwanga
Okutuusa lwe mulinkoowa nkyabagabula
\n
Kiki walumbe ky’otukola
Okutulesa abato abatannayawula?
Nze ndowooza wandirese
N’obatulesangawo nga bambi bakuze
Bw’obeera mazima ogaanye
Mwe bazadde bannange tukole tuti
Kavvula ebibyo munnange
Tokkiriza kulekawo na lw’abiri
Ssebo gula ennyama ewerako
Mukyala wo afumbe abaana bo balye
Bakwebaze nti munnaffe taata
Weebale otugulira akafumito
Balikomba endagala mu gennyini
Nga waakafa envunyu zikyakumeketa
Okkirize nti sikuba nsimbi
Wabula naye ate ndagula bikakafu
Gino emiranga gy’owulira
Olumbe bwe lubeera lumaze okukuweta
Tegaba maziga ga banno
Nti afudde obeera obalumye kukamala
Kuba kwoza ku mmunye
Ziggweko olufuufufuufu batunule nga ziraba
Bawenje by’olese okukulidde wadde
Eyo wabbali mu bunyomero
Abaana b’abafu ani amumanyi
Amutuweeyo eyeyagaza atunuulira?
Wadde nga b’abagagga ffugge
Bali mu nsi eno bagoma
Ate kati ekibi tuleka bato
Amabujje agatannayawula
Abeeyita abakungubazi
Be babafudde embeera eyo gy’olaba
Nze bwe nakitegedde nti
Ebintu bwe biri ne ŋŋaana okutereka
Ennyama ngula nkumu ne tulyako
Nga bunnange bulaba
Gye bulidaagira nga ŋŋenze
E kaganga nabwo bulibeera bulaba
Nti bwe yabangawo twawuuta amasavu
Abange olumbe lubbi
Kati laba twayuuya
Awava obuzibu buno
Be bano abakaabi be ŋŋambye
Teri ategeera bya nda yo
Ne bw’olirekawo ezzaabu
Baliddira ettu lya zzaabu
Ne bapakiramu empumbu
Ne babukwasa bu baaba
Nti by’ebyo omugenzi bye yaleka
Abakola ebyo bye ŋŋambye
Be bakungubazi lw’ogenda ensi ngiweddeko
\n
Kitalo abakaabi bannaffe
Kale mwefudde kyotosuubira
Ku guno omulembe gwa bamulekwa
Ate abato abatannayawula
Wadde sikigaana tulekamu abasiru
Enda mawogo okiwulira
Naye singa eriyo gw’otunuulira mulekwa
Ali awo eyenyumiriza
Abaleka emmayiro n’emmayiro
Agayumba wamu ne faamu z’agate
Abo baana baabwe be bavuga
Ebyo ebigaali eyo b’osisinkana
Yogera we nnimba
Bw’oba ggwe ki ky’okola?
Mugunya bibyo tiweeveera
Ndaba ne bw’olireka ebingi
Bunno bwo tebibweyagaza
Abakungubazi be ŋŋambye
Munnange be babyemiisa
Befuula ababukuŋaanya
Ku luno olunaku lw’oziikwa
Wulira bwe babwesooka
Nti kitalo nnyo bu baaba
Lino ettaka yalyegulira
Limuggye mu nsi n’agenda
Era nze ne balindekera
Nfuna aligula ne ndiwona
Ne ngula e Mawogola ewagazi
Ng’empalana tezinnayala
Kuno kusengwa yeeganga
Ng’anamayiiyirizo agaweza
Gwe awulira gwe nnyumiza
Ki ekiddako ky’otonnalaba?
Olumala okwabya olumbe
Buli omu atunda w’agabanye
Gwe ate abakulu baagambye
Nti bye byavaako olumbe kitaabwe n’azika
\n
Bw’oba okyewunise olowooza bye ndojja
Ebibaawo olumala okufa
N’otunuulira amabujje go
Ge balibbako ebikutuuyanya
Nze abange mbabuulira lwatu
Nti bwe ndifa ebyammwe biriba bikomye
Sisuubirayo muzirakisa
Gwe nkakasa alibasenza njogedde
Eggumba ly’oluma ng’ondabako
Munnange ly’erijja okukumala
Bino ebirala bye nkuŋŋaanya
Gulibeera mukisa nnyo okubifuna
Mpozzi Mukama ng’ayambyeko
Bannange ne mmala okubakuza
Kale nno bwe nfanga ne munziika
Ebyammwe biriba bikomye
Nze ndiba kitammwe afudde
Nga munywera tebangayo kujulira
Mwekumanga mu nsonda awo
Ennaku eriba efungizza ebamekete
Olukuttako akuzaala bwe luba
Mufunanga ekimyu wali
Ne mwesiba mu nkende mugume
Kuba ennaku eriba ebatandise
Ttondo butondo ery’otuzzi
Gano aganyweebwa g’olaba
Galikulangiza eŋŋumba gye
Nziyegese ku lukuusi mbakakasa
Mubeemu okumanya
Njogedde bitono biti
Bibeerere ddala mitima
Ng’omu ajjukiza munne we
Abakungubazi bekyaawa
Buli omu asika n’akweka
Ebintu ebikalu n’ensimbi
Nze kye mulidde ne nkiraba
Kye kindeeta amasanyu
Mujja okwayuuya ku luli
Bwe muliba munziise
Naawe awulira bye njogera
Ne ku babo teweesunga obubbi bwayaze
\n
Nina embuzi yange ensaata ke nva wano kugisala
Ŋŋende ngiryeko n’obwana bwange
Obuto kale obutannayawula
Kuba ensi ensobera
Oba ki ekitutuuyanya!
Okwogera ebitaayambe
Bwebeerayo abananjagala
Munnoonya gye bagwesiyira
Mpabula abalinziika
Teriiyo bintu bye nkwese
Mpakirira ddala olubuto
Eyabintuma ajje yecaange
Ŋenze Basudde w’abangi
Abakungubazi mwe ŋamba
Ŋenze Basudde w’abangi
Abakungubazi mwe ŋamba nga muli babi