0:00
3:02
Now playing: Shika

Shika Lyrics by Irene Namatovu


Ayiii
Jonah Pro
Ayiyiyiyiyiyi…

\n

Oh leero
Leero ssanyu
Oh leero
Leero ssanyu

\n

Emirembe ngalo
Mwattu naffe twaliwo
Kati mmwe abaliwo temunnalaba
Nga twali ba ddala
Twalina amazina ge bayita rhumba
Ng’ate abamu bo bazina salsa
Akandooya ne calypso nga bw’oba tobimanyi osemba (osemba)
Gaatuyambangako oluusi okukola duyiro
Mmwe bino bye mudduka mile okufuna enjawulo
Olwamala ng’oligita
Nga tudda mu ggandaalo
Bwe baayitanga abamanyi
Awo nga neesowolayo (eh)

\n

Shika, dance pole pole
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Yeah eh, tolinda kkengere
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Funa ky’onywa, omalemu bakwongere
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Ono bamuwe, n’oli bamuwe bw’ekala bajjuze
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza

\n

Fees z’abaana bw’omala oziwa
Todda mu kwerumya
Bw’oba osanze ekifi ky’enkoko ng’olya
N’eza bbanka bw’omala oziwa
Nga pressure ekkakkanye
Awo gwe anywamu olucupa lwa bbiya ng’onywa
Bazibumbira kwatika, todda mu by’okwerumya
Lwe balikuyiwako ettaka
Teri aliba awondera
Weetimbetimbeyo, ka skin ko nga kakyashanana
Weetimbetimbeyo, akabina ko nga kakyaligita

\n

Shika, dance pole pole
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Yeah eh, tolinda kkengere
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Funa ky’onywa, omalemu bakwongere
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Ono bamuwe, n’oli bamuwe bw’ekala bajjuze
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza

\n

Leka nzinywe nzinywe
Ze nnywako z’ezange
Leka nzirye nzirye
Ze ndyako z’ezange
Nebwogamba okekkereze
Weerumye mbu ogaggawale
Bwe kiba ssi ky’ekiseera kyo munnange bya mpuna
Nze nagaana, eby’okwerumya nakoowa
Kino ekiseera, kati kyaffe kya kucakala
Ngira nennyeenyaamu ku ggumba
Nga bwe neeriira bye njagala
Stress nze tonnyumiza, nkola binnyumira

\n

Shika, dance pole pole
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Yeah eh, tolinda kkengere
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Funa ky’onywa, omalemu bakwongere
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza
Ono bamuwe, n’oli bamuwe bw’ekala bajjuze
Onyeenyangamu ng’omugongo gukyayinza

\n

Oh leero
Leero ssanyu
Oh leero
Leero ssanyu

\n

Ayiii
Ayiyiyiyiyiyi


Irene Namatovu Singles