Mbaagaliza omwaka omuggya
Gubeemu emirembe
Ssekukkulu ennungi
Leka ebe ya ssanyu
Merry Christmas
And a happy new year
Buli omu mwagaliza omwaka
Omuggya ogulimu essanyu
Christmas
Eno abange Christmas
Tusanyuke, tuyimbe, tube n’emirembe
Omulokozi atuzaaliddwa
Kyova olaba essanyu lingi nnyo
Buli omu, alina essanyu
Nzijukira nga ndi muto
Maama yakeeranga
N’agenda mu bitooke ku makya
Ng’obukuba butonnyerera
N’aleeta akatooke n’akaboobeza
Abaana ne tulya, ne mubuuza
Nsonga ki ekukeezezza yaŋŋamba
Nti Omulokozi atuzaaliddwa oh oh
Mbaagaliza omwaka omuggya (eeh)
Gubeemu emirembe
(Leka gube gwa mirembe)
Ssekukkulu ennungi
Leka ebe ya ssanyu (aah)
(Leka ebe ya ssanyu)
Merry Christmas
(Merry Christmas and a new year)
And a happy new year
(Happy new year)
Buli omu mwagaliza omwaka (ooh oh)
Omuggya ogulimu essanyu (eeh eh)