Ricko
\n
Obudde bw’ekyenkya siibulinde kwemoola
Nkedde bukkolokkolo matumbi mu bisegguusi
Omubiri sirinze kundwisa
Amazzi gannyogoze naabye bigere nga nkumissinga
Yanguwa kuba ndiwo nzekka
Ku muti gwa ovacado
Wano nga ku luse lw’enju
Nakunogeddeyo amatugunda ne muwogo omuvumbike
Maama yannyima gonja
Munnange gye mpise nsisinkanye ebikanga
Ntidde n’ebinyeebwa byo mbisudde mu lumonde
Nali nakupimirako kko katono
Nga ninze lw’olikyala eka ojje nkuwe eddebe
Ku nsonda y’ekivu gitegese obuyinja
Bwe nkukanyugira okimanye nkulinda
Obudde bubuuno butandise okumwenya
Munnange yanguwa nina olubimbi ku nkya
\n
Bannange love y’ekito (ddalu)
Mmwe mweraba ng’ababa baliko (ddalu)
Ebeeyagaza nemusukkawo (ddalu)
Nammwe abakuze nno mwagirabako (liba ddalu)
Bannange love y’ekito (ddalu)
Mmwe mweraba ng’ababa baliko (ddalu)
Ebeeyagaza nemusukkawo (ddalu)
Nammwe abakuze nno mwagirabako (liba ddalu)
\n
Omanyi taata wo mmutya nnyo lwa bukambwe
Bwe yatusanga naawe yatukuba ebiyuuni (ebiyuuni)
Lwe lugendo lwe nzize okukulaba
Nga mmanyi wabutuka
Bambi kyuka tulabe ensingo
Lwa kutya mbooko saagala kugenda
Naye ŋŋumye kuba nina okusiibula
Nkuwerekere nkutuuse mu kakoona
Bw’otuuka naawe omperekere ontuuse we tubadde
Nga tonagenda ninawo kye nteesa
Buli obutunda n’emicungwa bye naakasimba
Tusabe Mukama bambi bikule
Tutunde tufune akayumba we tupangisa naawe
Emmambya yiino enaatera ozunga
Ekibi nazze ne kabuuti ya taata
Sirina leero za gula paani
N’omugaati gwa luli edduka likyabanja bbaayi gwe
\n
Bannange love y’ekito (ddalu)
Mmwe mweraba ng’ababa baliko (ddalu)
Ebeeyagaza nemusukkawo (ddalu)
Nammwe abakuze nno mwagirabako (liba ddalu)
Bannange love y’ekito (ddalu)
Mmwe mweraba ng’ababa baliko (ddalu)
Ebeeyagaza nemusukkawo (ddalu)
Nammwe abakuze nno mwagirabako (liba ddalu)
\n
Obudde bw’ekyenkya siibulinde kwemoola (ddalu)
Nkedde bukkolokkolo matumbi mu bisegguusi (ddalu)
Omubiri sirinze kundwisa (ddalu)
Amazzi gannyogoze naabye bigere nga nkumissinga (liba ddalu)
Yanguwa kuba ndiwo nzekka (ddalu)
Ku muti gwa ovacado (ddalu)
Wano nga ku luseebenju (ddalu)
Nkunogeddeyo amatugunda ne muwogo omuvumbike (liba ddalu)
Maama yannyima gonja
\n
Bannange love y’ekito (ddalu)
Mmwe mweraba ng’ababa baliko (ddalu)
Ebeeyagaza nemusukkawo (ddalu)
Nammwe abakuze nno mwagirabako (liba ddalu)