Mukama Katonda, nzize mu maaso go
Nga ngezaako okutegeera
Gyonaaba bwe bukeera
Lunaaba lwange oba
Lwa munnange, ooh!
Oboneka ddi Mukama eno ngootanye, aah
Nsonyiwa bwemba njogeza bugwagwa
Bwe kiba kisoboka Mukama tugattenga
Nga bwoba nga
Ewuwe gy’otadde omutwe gwo
Mukama Katonda ebigere bibe byange
Era bwoba nga
Ewuwe gy’otadde amatu go, ooh
Mukama Katonda amaaso togaggya eno
Wewaawo galabeko ewange
Nange mba nkwetaaga
Okimanyi nebwembisaba
notompa nze ndisigala nkuyita Mukama
Mu maaso gange tolikyuka
Olisigala Katonda
Wabula bw’okeera ne bukeerera ew’omulala
Kibeere nga bw’ova eyo
Oyitangako nange gye mbeera
Nsonyiwa bwemba mbyogeza bugwagwa
Bwe kiba kisoboka Mukama otugattenga
Otugattenga
Nga bwoba nga
Ewuwe gy’otadde omutwe gwo
Mukama Katonda ebigere bibe byange
Era bwoba nga
Ewuwe gy’otadde amatu go, ooh
Mukama Katonda amaaso togaggya eno
Wewaawo galabeko ewange
Nange mba nkwetaaga
Bwoba nga, bwoba nga
Ewuwe gy’otadde omutwe gwo
Bwoba nga, eeeh
Mukama Katonda ebigere bibe byange
Bibe byange eeeh
Era bwoba nga
Ewuwe gy’otadde amatu go
Ndowoozaako
Mukama Katonda amaaso togaggya eno
Eno nveeyo
Wewaawo galabeko ewange
Nange mba nkwetaaga
Mba nkwetaaga
Galabeko ewange, eeh
Nange mba nkwetaaga
Nkwetaaga
Galabeko ewange, aah
Nange mba nkwetaaga