Ani agula ensi kuba tugitunda?
Naye atuwa eza wamu abuze
Katugitunde mu bibajjobajjo
Wabula gye tulaga teri amanyiyo
Bwetulikwata omusimbi gwaffe
Africa, teri ayamba!
Omwavu bwe bakubba nkugamba
Totawaana n’ebyokuloopa
Amazima batya kugaatula
Nti omwavu tasinga musango
Eyakubbye omukwata
Kikwetaagisa ez’okuvujja
Ne bwoloopa tebabiwulira
Ke bamanya nti tolina kovaako
Omubbi ayongera kuyinaayina
Ye kuba ku ze yabbye abawaako
Africa, teri ayamba!
Tuombe Mungu baba
Akomboe nchi yitu
Mambo hayako sawa
Muona tuangamia
Tuombe Mungu baba
Akomboe nchi yitu
Mambo hayako safi
Muona tuangamia
Mu ddwaliro ekkulu e Mulago
Abalwadde baagalayo batono
Mbu na buno bwe balina mu nkukutu
Nabwo butere bufune ku bantu
Eddagala bagamba dyongeza
Ffe ate tuteesa dikendeeza
Ne be twatuma otukiikirira
Nabo bateeseza mbuto zaabwe
Mbu emmotoka ze tulina nkadde
Batuwe ssente, tuguleyo endala
Africa, teri ayamba!
Buli akola ekituzza emabega
Obeera weetabye mu kutunda
Ne mu maaso g’omutonzi
Gubeera gumaze okusinga
Wano ssiyombye buyombi
Wabula tulumirwe eggwanga lyaffe
Africa, teri ayamba!
Tuombe Mungu baba (tuombe)
Akomboe nchi yitu (tuombe Mungu)
Mambo hayako sawa (tuombe)
Muona tuangamia (tuombe)
Tuombe Mungu baba
Akomboe nchi yitu (tuombe Mungu)
Mambo hayako safi
Muona tuangamia (tuombe) x 2