0:00
3:02
Now playing: Teo

Teo Lyrics by Sasha Brighton, Chris Evans


Evans munnange
Bye ŋŋenda okugamba, bya kyama
Tobiraalaasa, kuba nkwesize
Nze okuva obuto bwange
Kale nga seewa basajja
Teopista waabwe
Nga siri ready kumenyeka mutima
Naye omusajja gye nasookera
Tebyali byangu kwekudduka
Nga ndaba level yange tansaanira
Beauty yange nali ngisaabye ettaka
Kwekufunaayo awo omusajja omuguuda
Kye nsaba ng’aleeta mu bwangu
Ssente maama nnyingi kamaala
Ooh nga sirina kye njula
Naye olunaku lwe natuuka maka ge
Nga wayise akaseera katono
Lwe nalaba his true colors
Nga negyenava ate sikyaddayo

\n

Oh Teo gw’eyali omusanyufu
Maziga g’okulukusa ye obadde otya?
Nandizzeeyo gye nasookera
Naye kati tekikyasoboka
Nze mbuuza ku malala go Teo kizze kitya
Okujuliririra, oli muwogo ne nakati?
Nandizzeeyo gye nasookera
Naye kati tekikyasoboka

\n

Teo wange eyali omusanyufu
Ng’olina ebitumbwe amaaso mataala
Byonna byaggwawo mukazi wattu
Era kati nasigaza nkompe

\n

Talk to me Teo wabaaki?
Tonnimba yogera amazima
Chris munnange ebyange bizibu
Kyonna kyendi Mukama y’amanyi
Oli yayombanga ate ono akuba
Oli bwe yayendanga bambi ng’akweka
Naye ate ono abakazi akulaga
N’owulira ekinugu nga bambi ozirika

\n

Oh Teo gw’eyali omusanyufu
Maziga g’okulukusa ye obadde otya?
Nandizzeeyo gye nasookera
Naye kati tekikyasoboka
Nze mbuuza ku malala go Teo kizze kitya
Okujuliririra, oli muwogo ne nakati?
Nandizzeeyo gye nasookera
Naye kati tekikyasoboka

\n

N’obudde talina ninga nga amwesibako
Mu mmotoka tubayitako
Mutwegomba naye nga ho!
Kino kya kuyiga muwulirize
Nyweza ky’olina gwe tebakuwaga
Tebakusudiya gwe n’okikanyuga
Olikinoonya nga peepererepe

\n

Oh Teo gw’eyali omusanyufu
Maziga g’okulukusa ye obadde otya?
Nandizzeeyo gye nasookera
Naye kati tekikyasoboka
Nze mbuuza ku malala go Teo kizze kitya
Okujuliririra, oli muwogo ne nakati?
Nandizzeeyo gye nasookera
Naye kati tekikyasoboka

\n

Teo wange eyali omusanyufu
Ng’olina ebitumbwe amaaso mataala
Byonna byaggwawo mukazi wattu
Era kati nasigaza nkompe