Twatandika mpolampola luno olugendo
Nga tetumanyi kiki era ekiribaawo
Twali baavu naye twalina omukwano
Ne tuguma, ne tutaganya bigambo
Mu kayumba kaffe kali ak’e Mpigi
Ng’ekyobugagga kye tulina kawagi
Nga n’akagomesi sikagula kuyiiya
Oh oh, n’oguma n’ofumba
Gye nali nkola nafunanga bbiri
Nga n’okuzifuna waayitanga kkumi
Naye gwe n’oguma n’ondaga omukwano
Ogutakyuka ogutalina bukuusa oh
Kisaati waabwe
Abaali banjogerera bafudde
Bagambe nti byonna bikyuse
Atalina wuwe aweeke ejjinja ooh
Kisaati waabwe
Abaali banjogerera bafudde
Bagambe nti byonna bikyuse
Atalina aweeke ejjinja
Amazima naye ddala nz’ani!
Eyali talina yadde ka pulaani
N’onzikiriza olekewo ba Makanga!
Nga Makanga yalina n’akaduuka
Walaayi kye nsuubiza eh
Sirituuka ne nkwefuulira eh
Olw’obusungu oba ne nvuma
Ndibeerawo era ndiba mwesigwa ooh
Kisaati waabwe
Abaali banjogerera bafudde
Bagambe nti byonna bikyuse
Atalina wuwe aweeke ejjinja ooh (ejjinja)
Kisaati waabwe
Abaali banjogerera bafudde
Bagambe nti byonna bikyuse
Atalina aweeke ejjinja, ooh (ejjinja)
D-Records
Producer Renix
Nkukwasa bulamu nze sirina kalimba
Sirina Beamer, sirina bugagga
Naye nga mukwano nasalawo
Omutima laba ne nguwaayo
Ndikuggya wa akusinga empisa?
Akwagala naatakuteeka mu ccupa
Abasinga omukwano bagulunga
Olaba kugonda kumbe bakulunga oh
Walaayi kye nsuubiza eh
Sirituuka ne nkwefuulira eh
Olw’obusungu oba ne nvuma
Ndibeerawo era ndiba mwesigwa
Kisaati waabwe
Abaali banjogerera bafudde
Bagambe nti byonna bikyuse
Atalina wuwe aweeke ejjinja ooh
Kisaati waabwe
Abaali banjogerera bafudde
Bagambe nti byonna bikyuse
Atalina aweeke ejjinja
Nkukwasa bulamu nze sirina kalimba
Sirina Beamer, sirina bugagga ooh
Kisaati waabwe, aweeke ejjinja ooh
Mu kayumba kaffe kali ak’e Mpigi
Ng’ekyobugagga kye tulina kawagi ooh
Kisaati waabwe, aweeke ejjinja oh
Nkukwasa bulamu nze sirina kalimba
Sirina Beamer, sirina bugagga ooh
Kisaati waabwe, aweeke ejjinja ooh
Mu kayumba kaffe kali ak’e Mpigi
Ng’ekyobugagga kye tulina kawagi ooh
Kisaati waabwe, aweeke ejjinja ooh!
Show more