Mukwano mbadde nno nnyiize okulinda nga todda
Ne ngezaako ntegeke naye nga nnyabo obudde
Omanyi essigiri zooku nkuba zikooya
N’okuma amagulu kumpi kukuggwaako bwoya
N’empewo n’eba nga nayo eriko ky’enoonya
Ate nga gw’otegekera naye tatuuka
Munnange nkwagala kufa
Naye ka chai ka leero
Oba tukanywe ku makya?
Kuba essigiri yanzikiddeko
Gwe oba ogikuma buto?
Nze naye mbadde nabivuddeko
Kuba naawe olwawo
Kati leka nkoleeze
Naye naawe nno oyige
Empisa otereeze
Omanye nti munno wo yenze
Munnange okulinda asooba bikooya
Ne weewa omuntu nga naye ye tayiiya
Gwe n’obeera awo ng’akulaba oyayuuya
N’empewo n’eba nga nayo erina ky’enoonya
Dear nkwagala kufa
Naye ku luno eky’ekiro
Oba tunaalya ku makya?
Mukwano nfumbe ku makya
Omuliro gwanzikiddeko
Kuba mbadde nabivuddeko
Kuba naawe olwawo