0:00
3:02
Now playing: Ojanga Nosaba

Ojanga Nosaba Lyrics by Wilson Bugembe


Bobi
Bosss!!! (hmmm)
Big up to all the nation (aah)
What’s all this confusion?
This is a Rasta-Pastor discussion
Listen to the good boys

Bobi
Leero Pastor kinkoze bulungi ne nkusanga
Nina na bingi abantu bye bagamba
Kyova olaba nze sisaba ku Sande
Olw’ebibuuzo ebingi ebitalina answer
Ekyo tekitegeeza nti Katonda simumatira
Oba n’ebirungi bya nkolera ssibimatira
Nze naye buli lwe nnoonya we musabira
Awatuufu ye wa?

Both
Nandyagadde ne nsaba ku Sande
Naye ate bye mpulira bintiisa
Eeh nedda ojjanga n’osaba
Eno mu Kkanisa tewali ttabu
Bantu bangi tunoonya mirembe eyo
Naye mpulira ebizibu bisinga eyo
Hmmm nedda, nedda
Eno munnange tewali ttabu

Both
Nze sikulimba
Buli kimu kirina answer Bobi
Abantu bakoowu
Kubanga ba babbye ssebo
Abantu balwadde mitima, balwadde
K’oli Pulezidenti waabwe
Buuza ebibalumya emitima nange wendi
Ngezeeko; nfube nnyo, ngezeeko
Mutugamba nti jangu nga bw’oli onawummula
Ate olutuukayo ne mutusaba akaja
Essaala ze musabira omwavu n’omugagga
Ziba za njawulo nange kyansobera
Nze nange kennyini
Njagala nnyo nzije naye oluusi ntyayo, oh

Both
Kati onsuubira otya okujja mu Kkanisa?
Nga bwe nsoma amawulire
Abasumba balya bisiyaga!
Eh vvaawo no no no
Vva ku bantu Bobi
Nze nkugamba Yesu atalya bisiyaga
Nze atalina ssente yala
Bwe nzijayo eyo ne mungobesa ebinusu?
Oli omukazi omunaku ow’eppeesa
Yawaayo okusinga abagagga
Ate aloga muggya we amutte
Ng’ekkanisa gy’akozesa ng’essabo lye?
Ekkanisa ezimu hmmm,
Funa akadde twogeremu ewange
Entalo nnyingi ze nwanye zankeeta (ewammwe)
Kati ate entalo nnyingi mu banaddiini
Maama tuswadde!
Yesu bye yagamba twabivaako
Yagamba oli bw’akkuba oluyi
Kyusa ne ku ttama eddala okube
Haa!, ate ekyo kyantabula!
Anyway eby’enjiri byo nze byansobera!
Kubanga nze ewaffe gye mpoyera
Bw’ompa oluyi nze nkuddiza ŋŋuumi

Bugembe
Edda ennyo nga tuli mu kyalo
Ng’ewa neighbor balya abantu
Mbu era mu ddiiro lyabwe
Mulimu ekinnya kya wala (tell me this)
Waliyo amafumu wansi
Ku ngulu baalako mikeeka (what!)
Bw’okyala awo w’otuula
N’ogwayo ne bakulya (what!!!)
Maama, lwali lumu ne wafaayo omuntu
Abange nakulabira ani agenda okuziika (Bosss!)
Twatuuka mu lumbe
Mulambo mu ddiiro mwe bagutadde (anha)
Ng’abakaaba we batudde
Kyokka tewali agwayo (tewaali?)
Abantu baayomba, banyiiga
Ani yalimba ekyalo? (hehehe)
Singa tetwagenda, mu kuziika
Tetwanditegedde mazima (okay)
Kati bwegutyo bwe guli
Ne ku balokole by’owulira (hahaha)
Tegeka famire yo
Barbie mugambe ayambale
Ne Kampala ayambale
Tugende mu Kkanisa okusoma (Preach them Pastor)
Mwezuulire amazima
Mwezuulire amazima aah ah

Both
Nandyagadde ne nsabako nammwe
Naye ekikulu nina amaraasi
Eeh nedda ojjanga n’osaba
Eno mu Kkanisa tewali ttabu
Eyo mu church mwambala bi gentle
Kati ate ffe abambala ekiraasi?
Hmmm nedda, nedda
Eno munnange tewali ttabu
Ate n’oluusi ekitulemesa nga ffe
Kwe kujja eyo ne mutuyita abayaaye
Eeh nedda ojjanga n’osaba
Eno mu Kkanisa tewali ttabu
Kati watya bwe nzija ne Kabaaya
Ne ntuuka ne mumugobera ebweru
Hmmm nedda, nedda
Eno munnange tewali ttabu
Bosss!!!