Bw\'oba nga gw\'olabirako muyaaye
Era naawe ofuuka muyaaye
Bwe baba ng\'abakulembeze bayaaye
N\'abatuuze bayaaye
\n
Yazaalibwa mu kabuga ak\'e bunaayira
N\'akula n\'empisa nga yeetowaza
Nga buli taata we ky\'amugamba amugondera
Nga yamugamba nti ye takola bya kikwangala
Nga yamugaana eby\'okulwana
Nga bw\'omukuba ettama, akukyusiza ddala
N\'ayawukana nnyo ku bavubuka abalala
Nga yamugaana abawala, enguuli n\'enjaga
Teyamanya, nti oluusi omwana w\'omuntu byakugaana ate abikola
Taata we baamukwata n\'akawala nga batunda enjaga
Kati takyalina taata gw\'assaamu kitiibwa
\n
Yafuuka muyaaye n\'enjaaye kati aginywa
Ayogera luyaaye ne mu Kiyaaye gy\'asula
Abamuyita omuyaaye nti eby\'ekiyaaye by\'akola
Naye abayita bayaaye kuba tebakola bye babuulira
\n
Olunaku lumu ng\'enjuba enaatera okugwa
Yasanga ekkanisa nga yonna enekaaneka
Bambi teyakimanya nti yali ya kikwangala
Pasita yali muyaaye ng\'anoonya za mata
N\'amuyigiriza okusiga n\'okugaba
Nti amuwe ssente agende ayambe abadaagana
Bwe yafuna, ssente n\'aziwa pasita ayambe abanaku musomi yayiga
Musomesa yazimba kalina nga kyokka endiga ze zirya amaluma!
Kati takyalina pasita gw\'assaamu kitiibwa
\n
Yafuuka muyaaye n\'enjaaye kati aginywa
Ayogera luyaaye ne mu Kiyaaye gy\'asula
Abamuyita omuyaaye nti eby\'ekiyaaye by\'akola
Naye abayita bayaaye kuba tebakola bye babuulira
\n
Maama we akaaba (akaaba)
Agamba mwana wange ebya taata wo biveeko (biveeko)
Okomewo gyendi eno, bw\'onokyuka (uh uh uh)
Ojja kufuuka taata omulungi ateesittaza baana (uh uh uh)
Bakuyigireko bingi nnyo
Ne Mukama bw\'atyo (uh uh uh)
Agamba mwana wange ba pasita abayaaye bangi (uh uh uh)
Naye n\'abatuufu bangi nnyo
Olinga eyasimba ebinyeebwa
Nemumereramu ebiddoddo
Oyo pasita gwe wasanga
Yali kamyu kye yava akusiiwasiiwa
\n
Wafuuka muyaaye n\'enjaaye kati oginywa
Oyogera luyaaye ne mu kiyaaye gy\'osula
Abakuyita omuyaaye nti eby\'ekiyaaye by\'okola
Kituufu nabo bayaaye kuba tebakola bye babuulira