Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa
Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa
Bw’onnyonyogera, bw’onnyonyogera
Bw’onnyonyogera, nange mwattu neemwemwentula
Bw’onnyonyogera, bw’onnyonyogera
Bw’onnyonyogera, labayo mwattu neesesasesa
Laavu, bw’ompa ku biri bye wansuubiza
Tobiwa bali ba zinkuunye
N’omukwano gwo ngwetisse
Akabuzi keweggyako okanya mifumbi, so
Mu bufunze laavu yo enkutte ku mutima
Gy’ompadde ngikutte ku busomyo
N’omukwano gwo guntutte mu mazina
Ky’ova olaba ng’ondi munda mu buziba
Bwe bakumetta ettaka
Ndijjanga okunaaza ppaka nkutukuza
Ne bwe batuyisa mu bidiba
Dear sirikudibya
Nnyabo sirikukaddiya no!
Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa
Ndiisa mpola tebintuga, ndiisa
Bwe ngyoya ekibumba nte gy’onsula, ndiisa
Bwe nkukamula mpoomerwa ka wine, ndiisa
Ntwala ku Café Javas tunywe ka chai, nywesa
Sotta sotta sotta…nyongera ggama
Olusoggo ndusimba mu gwe ng’ente ekamwa
Ne bwe nkunuunako akawoowo ko kasigala matama
Daily onsimattula eno wulira
Nze no tebintama
Sotta bike
Fire upon your eyes
Figure yo mi like
Sotta sotta bike
Your lips mi like
You’re pon me like
Your kiss mi like
Gyal every ting me like
Kati nze bwe mba ntudde, njaga
Ndowooza bwe mba ffenna nywedde, aah
Era ndowooza ku gwe
N’omutima gwo nsibye lumu
Bwe mba nywedde twesojja
Luyiira mwattu lututte
N’obutiiti bw’omukwano mwattu bunkutte
Bwentyo bwe mba
Lwotalabise nswadde
Bwe mba nimbye omukwano
Bba nsudde bye twateesa
Aah ku kyalo Kyabadaaza
Nabalekayo nga badaaga
Omukwano gwo n’ogwange gwesanze
Bonna bakwesunze ntidde ngejje
My gal gal gal gal…
Wampanika nga mmanyi osaaga
N’ongezesa ppaka ng’osiimye
Bwe wannyanjula ewaka ne bampita omusajja