Genius Omuzira
Brian Beats
\n
Chorus
Singa tetwali bayimbi
Twandibadde ki aah aah nedda
Ye singa tetwali kye twali
Twandibadde ki aah aah nedda
Nze mundeke njogere bye ndaba
Munanvumako kajanja
Bwe ndimala okubyogera
Munkoleko kye mwagala
\n
Verse I
Aah aah Juliana yandibadde Teller mu bank
B2C ne babeera ba city biker
Omutujju nga muddusi wa misinde gya mpaka
Mesach nga y’omu ku bambowa ba Kabaka
Owa catering nga Catherine Kusaasira
Nakimera gwe osaana bwa kumodola
Kenzo olabika nga ba footballer
Irene Ntale asaana bwa lecturer
Topic bw’ayingira saloon ogamba mwakola
Mary Bata singa ebizigo y’atabula
Weasel ye muntu anyuma ovuga trailer
Aziz Azion ate ye engineer
Atamanyi Ragga Dee yandimuyita omu surveyor
Chris Evans asaana bwa pastor
David Lutalo singa kati doctor
Mun-G annyumira avimbisa ba rasta
Rema yandibadde TV presenter
Amawulire ku radio nga Nwagi yagatafuta
\n
Chorus
\n
Verse II
Ku bizinga sibula kasita mba ne Barbi Jay
Roden Y alabikamu nga ba DJ
Daxx Kartel bw’aleekaana ogamba VJ
Neekanga ku mufuusa nga mmanyi Bafana
Victor Kamenyo mulabamu obwa designer
Ykee Benda alabika asobola art
Navio olabika nga ba tourist
Saha singa speaker mu parliament
Lutaaya ate gwe genda ku bwa mayor
Walukagga nkulabamu ekyama kya lawyer
Cinema zaalinyumye nga Pallaso y’azizannya
Mu ky’ensonga z’amaka Jamal Wasswa gwe noonya
A Pass yandibaamu obwa producer
Hilderman alabika nga professor
Diana Nalubega muba nurse gye mussa
N’omutimbi w’abagole Betinah Namukasa
\n
Chorus
\n
Verse III
Uganda erinyuma nga President Bobi Wine
Omu ku ba rich gang nga Chameleone
Maureen Nantume nga manager mu zi company
Stecia Mayanja anyuma oyitibwa Aunt saloon
Bw’ontuma aba Shaolin Temple Don MC kwe nsookera
Senga w’ensonga Stabua gwe ntuukirira
Boutique bw’ebaawo Namubiru gwe ngitonera
Mu wrestling w’abakazi Anitah gy’anyumira
Sheebah mbega omukugu akiyinamu n’eddaala
Mayinja n’abogezi bo ku mikolo toyawula
Kiweewa yandinyumye nnyo nga ddiikuula
Nanoonya kye mpa Hajji Harunah Mubiru kyabula
Principal twandibadde na Spice Diana
Chef nga Pastor Bugembe gwe tulina
Hassan Ndugga ba cowboy bamufaanana
N’olwekyo embalaasi baalivuzenga bonna
Bebe Cool ekiwago kye kya ba bouncer
Buli lwe ndaba Mukaabya nsigala mbuusabuusa!!
Ndabira ddala omusawo Omuganda oli kakensa
Oba tampulidde?
Genius Omuzira