Genius Omuzira
In another tune
Brian Beats kikube
Emize gy’abayizi
\n
Yadde egimu saagirondoola
Gye nasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy’abayizi
Gino gy’emize gy’abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama
Naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy’abayizi
Nkutte ku mize gy’abayizi
\n
Abayizi balina emize egiwerako mu ssomero
Gwe nsookerako kwe kukuba embeekuulo
Okutoloka ne begendera mikyakalo
Okukoppa mu bibuuzo ekyo kitalo
Batafuta nnyo ekingere ekiri broken
Okukuba abasomesa obufaananyi bu cartoon
Babusseeko nno ewalungi naye ate mu zi kabini (kaabuyonjo)
Tebakomye awo ne bi nickname ne babatuuma
Abalenzi baakira nnyo mu ba newcomer
Suggestion box bassaamu gagambo ganene
Okutoloka okumpi n’essomero ne babbayo ffene
Vernacular speaker okumwambaza ekigumba
Abaana b’abasomesa eky’ensonyi ate be basemba
Tolimusanga mu kibuuzo nga takomba pen
By’ajjuza nga talina paper ejjudde majaani
Nga ne bw’aba akoppye atwaliramu n’erinnya
\n
Yadde egimu saagirondoola
Gye nasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy’abayizi
Gino gy’emize gy’abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama
Naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy’abayizi
Nkutte ku mize gy’abayizi
\n
Ku talent show ba immitatinga nnyo director
Thirty percent ewaka tebatuusa lipoota
Omuwala bw’afuna olubuto tava mu sweater
Ensawo agiweekera maaso tebaluketta
Okukuba abazadde enjawulo ekyo baakikwata
N’asaba byebatamutumye nti babyagala
Okwekuba eŋŋuumi nga baliko gwe balwanira
Okumenya bu case saako n’okusomola
Ku University oli ajja ne yefuula lecturer
Nga yesmartinze era nga kizibu omutegeera
N’abeeweesa work n’ebitabo ne mukuŋŋaanya
N’abuuka nabyo n’atema ebyo n’akumpanya
Abawala beesooka nnyo obutanda bwa waggulu (nti kange)
Kibalwanya mu dorm zaabwe ne bakuba n’enduulu
Okufukanga ku buliri ng’ate gakulu
Ne gawa bu young akasente bugaanikire
Gatya embooko ne geefuula agakubiddwa lubaale
Kyokka ekinnuma ge geesabika ng’agawendule
Genius Omuzira
\n
Yadde egimu saagirondoola
Gye nasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy’abayizi
Gino gy’emize gy’abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama
Naye nga koogezi ka nsonga
Emize gy’abayizi
Nkutte ku mize gy’abayizi
\n
Ku lunaku lwa V.D beesunga nnyo okubakyalira
Batuula ku gate ne bateega kwe balindira
Ba saagala kunaaba beekuba nnyo perfume
N’okkuba dry wash mu ngoye era be bamu
Badodginga preps ne balimba nti balwadde
Okutuuka late yadde mbadde nkyerabidde
Ebiwala ebinene biriira nnyo mu class
Biganza abasomesa ne babyongeza ne marks
Food Doubling Club giyite FDC
Eyo okusinga ebaamu balenzi abali stubborn
Baawula ennyongeza abo ng’omutumye ku canteen!
Beebamu abatega ne ku parade obulabirwamu
Mission nga kulingiza bawala na ba madam
Okusudiya bannaabwe emiggo nga gibalya
Ne bamuwaga nti metal kumbe yeegumya butaswala
Boonoona ebintu by’essomero mbu term egenda
\n
Yadde egimu saagirondoola
Gye nasimbako nnyo essira gye gino
Emize gy’abayizi
Gino gy’emize gy’abayizi
Muligamba nti akalenzi kaasama (Genius Omuzira)
Naye nga koogezi ka nsonga (in another tune)
Emize gy’abayizi (Brian Beats kikube)
Nkutte ku mize gy’abayizi!