All
Alinda baana be mujje munaabe
(Yeah man you know that)
Sabbuuni amulina, n’akakuuta akalina
Washington Music, hahaha
Yes boss, Washington
A Radio, Weasel
Pastor Bugembe
Alleluyah
Radio & Bugembe
Eno ensi enteereddewo amateeka mangi
Ku bipande, mangi agambuzaabuza
Nfunya amaaso nganyigaanyiga
Neetegereza, ensobi zange
Nneme kusobya nkeera
Ebintu kwe nkeerera ssi kwe nzibiza
Byonna bikyuukakyuuka, mbeera
So nga nange nandyagadde
Ntuuleko ku kijjulo ky’abatono abalonde
Newankubadde situukiridde mu byange
Nzija mpolampola ngezaagezaako nange
Katonda bulijjo yebuuza!
Radio, Weasel abeesunga
Ku lwaki mwekweka?
Mukubye emiziki egy’abalala
Erinnya lye mulyebalama
Lwaki ekkanisa mugyekweka?
Okwagala kw’alina gyendi, kw’alina gy’oli
Okwagala kw’alina gyendi, kw’alina gy’oli
Okwagala kw’alina gyendi, kw’alina gy’oli
Okwagala eri abato, kw’alina gy’oli
Weasel & Bugembe
Ensi yaffe
Oh, ensi yaffe yo yafuukuuka dda
Omutonzi twamwelabira dda
Twetaagamu ssaala zokka
Omukwano tw’alina gw’afuluka dda
Tweraba kabwa na ngo
Empisa zagwenyuuka
Eh, obugagga bw’olina
Teweerabira ojjukira n’osaba
Ebivve by’olina
Fukamira ggwe neweenenya
When the good Lord leads ma way
I can never never loose ma way
When the good Lord leads ma way
I find ma way
He leads ma way
Oyo akeera ku makya n’aggulawo oluggi
(entrance free of charge)
Obudde ne bwe buziba taggalawo oluggi
(taggalawo)
Alinda baana be mujje munaabe
(mwenna mwenna mujje munaabe)
Sabbuuni amulina, n’akakuuta akalina
(ooh akalina)
Ani alina amaanyi agasinga ag’embogo?
(Katonda)
Ani alina laavu esinga mukyala wo?
(ye Katonda)
Ani alina emmundu ezisinga z’omanyi?
(ye Katonda)
Ani alina obulamu obusinga bw’olina?
(ye Mutonzi)
Okwagala kw’alina gyendi, kw’alina gy’oli
Okwagala kw’alina gyendi, kw’alina gy’oli
Okwagala kw’alina gyendi, kw’alina gy’oli
Okwagala kw’alina gyendi, kw’alina gy’oli
Weasel & Bugembe
Washington
Oyo akeera ku makya n’aggulawo oluggi
Radio & Weasel
Pastor Bugembe
Obudde ne bwe buziba taggalawo oluggi
(Alleluya)
Alinda baana be mujje munaabe
Sabbuuni amulina, n’akakuuta akalina
Ha ha