Chris & Weasel
Better days are coming soon
Yes gyal
Ah you know it’s Weasel Manisal
Alongside OJ
Myco Chris, Radio hahaha
Rub the nation
Serve the ration
Serve, rock the nation
Mpenzi wangu (zaganana)
Mpenzi wangu (zagananana)
Chris
Zino ennaku
Ziruma, zinyiga
Zino ennaku
Zikoma
Zino ennaku
Ziruma, zinyiga
Zino ennaku
Zikoma x 2
Radio
Oh sweet babe ndi eno nkulowoozaako
(Nkulowoozaako)
Nakedde kunoonya mata ga suzaana
Gambuze leero (leero)
Eby’okuyiiya bya kugezagezaako
(Kugezagezaako)
And yet my babe oli mugumiikiriza nnyo (leero)
Okubeera nange kizibu
Omutamiivu nga nze omuzibu yeah
Towuliriza bintu bye bakugamba
Ababagamba eriyo ababagamba
N’oyo aba yakugamba
Waliwo era, eyamugamba aah, yeah yeah
Weasel
Oh lemme say
Mukwano gwe guma buno obulamu bwe buba
No matter where you come from gwe nyiikira toba
Ne Mungu musabe kuba obulamu bunyiga
Bukusensera gwe n’obula okwetuga
Okubonaabona ssi kwe kufa no gwe manya
Buliba buti nga naawe mu nsi weetala
Omuliro tozikiza gwe yongera kumulisa
Ab’ennugu ntoko naye gwe tobataayiza
Never let the Babylon inna your way
Never let anybody know your life
So baby run number one
Musta number one
Kaboom come back
Kaboom come back yeah
OJ
Yes baby, wekwate eyakutonda
Ebizibu bye tulina ebingi bijja ne bigenda
Manyi omanyi, gye tuva ne gye tugenda
Olindalindako essaawa ey’ofunya calendar
Guma, saba Mukama alikuwa
Suubira tokoowa
Era manya, ebirungi biri mu maaso eyo
Ffenna gye tugenda
One more time
Guma, saba Mukama alikuwa
Suubira tokoowa
Era manya, ebirungi biri mu maaso eyo
Ffenna gye tugenda