0:00
3:02
Now playing: Ngenda Maso

Ngenda Maso Lyrics by Radio & Weasel


Amawulire gaagano, nga gakutuusibwako Yusuf Ssali
Abayimbi ba Goodlyfe, Radio ne Weasel
wetwoogerera baliira ku nsiko
Omusaasi waffe kaagatuwe mu bujjuvu…
Elinya lyange olisiize enfuufu
Ogambye abantu ebyenyanja byange byentunda bivundu
Amagoba gange gakukwasa ensaalwa
So nga maanyi gange, lwaki oyagala okufuna amangu?
Oyagala bineme, ebyange byononeke
Abaguzi badduke, nfiirwe, gw'onyumirwe
Ngenda maaso, ooh! (Nana nanana)
Ebirungi biri maaso (Oh yeah yeah,,,)
Ngenda maaso, ooh! (Forward like a soldier, soldier bwoy)
Ebirungi biri maaso (Forward, forward, listen to me…)
Lemme say,
Abantu bansobedde, okukyuuka tekitwala budde (woyi!)
Amaaso bakanudde mbalaba babala kuzenkoledde (woyi!)
Omutonzi yanjuna nze kuba obuyinza buli gyali (woyi!)
Oyagala binneme, nze nfiirwe gw'ojaguze
Oyagala nkaabe, nze nkogge gw'ogejje
Oh naye abantu, bafuuse abantu kale
Oh naye ebigambo, bifuuse ebigambo kale
Ngenda maaso, ooh!
Ebirungi biri maaso
Olutambi lujjudde nzingulula, nange binsobera
Ab'oluganda baawukana, beesanga beetomera
Natandika okwekozesa, banoonya ng'ensowera
Naye abantu, bafuuse abantu
Naye ebigambo, bifuuse ebigambo
Listen to me,
Chatty chatty mouth,
Me want to know your culture, chatty chatty chatty
Ngenda
Chatty chatty mouth,
Me want to see your papa, chatty chatty chatty
Ngenda maaso, ooh! (Gw'atunda amandaazi, wadde ovuga kagaali)
Ebirungi biri maaso (Beera n'amanyi)
Ngenda maaso, ooh! (Omuwanvu n'omumpi, omuddugavu n'omweeru)
Ebirungi biri maaso (Beera n'amanyi)
Ngenda maaso, ooh! (Oh naye abantu, bafuuse abantu kale)
Ebirungi biri maaso (Oh naye ebigambo, bifuuse ebigambo kale)
Ngenda maaso, ooh! (Oyagala bineme, ebyange byononeke)
Ebirungi biri maaso (Abaguzi badduke, nfiirwe, gw'onyumirwe)
Oh nana nanana…