Katonda bw’akuwa omuntu
Gw’osiimye kiba ng’ekirooto
N’omutunuulira nga yenna
Omwewulira era akusanyusa
Nze mazima nali nterebuka
Ng’anti oluddewo okutuuka
Ng’anoonya eyo laavu eri natural
Gye mpulira mu buyimba
Omuntu gwe sirina kyentoma
Okugaya oba okukyusa
N’obukooweekoowe bubwo ku maaso
Era nabwo bulungi
Yadde ebigambo mu nsi bingi
Bimpeddeko mukwano
Nkugambe ki kyotalaba ku laavu
Enzijudde mu maaso