Eh yeah yeah
Buli lwempita eyo ne mpulira nga bagereesa
Nti obugagga si kusonda
Abalala ne bantiisa nti
Abakola ennyo beebatafuna, ensi eno
Lw’okedde n’opatikana kyewunyisa
Ovaayo ngalo nsa
Eby’ensi eno bwebityo
Oba ng’afuna ng’ate ebizibu byesomba
Ebya dunia bwebityo
Nkoze emirimu mingi naye omutuufu gwabula (eh)
Nti batugamba tuzikwata bubi
Naye abagagga be basinga ozisaasanya
Nti batugamba tetusavinga
Naye nga twerekereza olumu tulya na maluma
Omwavu lw’awadde omukazi
Omutwalo asula akaaba, eh
Omwavu lw’alidde ku ssente ze
Azirya yeekomomma aah
Ogenda n’onnyuka na lukumi kale
Nga lw’olina nga kw’osibidde empale
Ku kkubo n’ojja osanga omusirikale
N’alutwala gwe n’osigala sseke (hey)