Hmmm
Bo bo bo bo bo bo
Hmmm hmm hmm
Nessim Pan Production
Kamya yali mugezi nnyo
Bwe yali asoma mu kibiina
Nga buli mwana ekimudaaza
Ye tayinza kigwa
Yeeresa disco n’asula mu ku revisinga
Yasoma bulungi ne bamutikkira, ne yesunga okola
Naye omulimu gwabula yonna gye yagenda okugusaba
Era diiguli ye yamusala, ennaku n’eruma
Kati yafuuka toilet attendant mu Kikuubo
W’aggya z’asasula abamubanja, n’akazigo mw’asula
Ekimunyiiza agaali agasiru mu kibiina
Galina emirimu gavuga mpya
Mwana wa gundi yajuna, ooh
Naliko mu mbeera
Yesu y’anzigya mu mbeera
Naliko mu mbeera
Yesu n’anzigya mu mbeera nange
Asobola asobola Yesu (yeah yeah)
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola muganda wange
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola okukyusa embeera
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola muganda wange yeah
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola okukyusa embeera
Asobola asobola asobola Yesu
Yeah yeah yeah yeah
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola muganda wange
Asobola asobola asobola Yesu