(Verse 1)
\n
Wansi w’omuti
Gwa fene ogwo gw’olaba
Wenatulanga ne guitar enkadde gy’olaba
Nensuna suna obuyimba nenkuba
Nasulangawo akabo akassente nefuna
Abanyumirwangamu akassente bakawanga
Laba wezija zireta mwana muwala eyakula nawola
Nakisulamu ekido muyimbire
Kamunyumira nnyo akayimba nazina
Era tewali kulanga kulala
Namusabirawo aka number
Kuba omutima mwana muwala
Yagukubirawo akagwala
Katukuvire ku ntono owulire
\n
(Chorus)
\n
Awo wenajja maama wo
Awo wenajja maama wo akuzala
Awo wenajja maama wo
Awo wewaava maama wo akuzala
\n
(Verse 2)
\n
Anti watwala maaso ge ggwe tolaba
Ekifananyi ky’obulungi bwe mu ggwe kiraga
Gwenjagala ennyo ku mutima
Twagala nnyo ggwe totulaba
Nga twadigida mu kibuga
Atatulaba atunyoma
Mu eyo kakondo eya bululue
Gye ya yambala nga nabasaliza
Nga nze nsekera mu kimugunyu
Kuba yalonda nze
\n
(Chorus)
\n
Awo wenajja maama wo
Awo wenajja maama wo akuzala
Awo wenajja maama wo
Awo wewaava maama wo akuzala