0:00
3:02
Now playing: Njalwala

Njalwala Lyrics by AaronX


Jacob Beats

\n

Oh ooh
Eh yeah

\n

Mpitibwa kasajja lwazi naye bw’ojja ŋŋonda
Nze ŋŋonderera ng’eryenvu
Alikunkyaya gundi aliba wa ttima
Era sirimusonyiwa oyo
Okuva lwe walungiwa otyo ensi yange ndala
Gwe wagikwakkulako oluuyi
Nze ndi muntu wa mirembe nnyo naye ekisajjula embeera kwekukubulwa nti, eh
Nakuggyirako akakoofiira ah
Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh!
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana
Gwe nakuggyirako eno seppeewo ooh
Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh!
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana, yeah

\n

Yeah eeh, eeeh…
Bw’ovaawo nja lwala
Yeah eeh, eeeh…
Bw’ovaawo nja lwala
Bw’ovaawo nja lwala

\n

Olinkyawako bbuba
Kuba buli w’onaalaga nina okulondoola
Olinvuma butakkuta
Kuba ku bulungi bwo baby nina okuwuukuuka
Ndikwagala buteddiza
Tubeerezeemu ppaka embugubugu okugwa
I wanna tell you how I feel inside
But I feel what I feel is not enough
I wanna give you the entire world
But I know, the world is never mine
Oooh
Eeeh

\n

Nakuggyirako akakoofiira ah
Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh!
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana
Gwe nakuggyirako eno seppeewo oh
Bwe nkulowooza ogamba siikeese eh!
Nkusaba ojjukirenga nnyo luli olunaku lwaffe lwe twasisinkana, yeah

\n

Kale nno bwotyo nze onjogeza ennimi
Simanyi lw’olindeka oti nze ndyebikka ndigi
Ekyo kiriba kirwadde kirindeka ku ndiri
Nkuwema butungo mwanattu bw’oleka
Ssi ku buwoomi bw’omukwano obwo
Era alikweŋŋanga alimanya oluba
Kw’olwo alimanya akanfaamu eeh

\n

Yeah eeh, eeeh
Bw’ovaawo nja lwala
Yeah eeh, eeeh
Bw’ovaawo nja lwala
Bw’ovaawo nja lwala