0:00
3:02
Now playing: Somesa Egwanga

Somesa Egwanga Lyrics by Radio & Weasel


Education is a must
A Radio, Weasel Production

Radio
Twala abaana basome
Guno omulembe ssi gw’abataasoma
Toola ensimbi osasule
Balizikuddiza bwe baliziweza
Obawaana nti wazaala bawanvu
Bawanvu nnyo ng’emivule
Obawaana nti wazaala b’amaanyi
B’amaanyi nnyo ba kiwago
Basomese bafune amagezi
Balikola eby’amagero
Twala abaana basome
Guno omulembe ssi gw’abataasoma
Twala abaana basome
Bakuguke mu byonna bye twalemwa
Twala abaana bayige
Bateeseze eggwanga likule

Balitindigga eŋŋendo empanvu
Balibayitako abazira
Gwe tobawaana nti wazaala banene nnyo
Ne batufuukira envubu
Bw’obabiibiita n’obakuza ekyejo
Byonna biri bayita mu ngalo
Balizannyanga balimenya n’essowaani
Okunyiiga kube nga kwa kigero, uh

Somesa eggwanga
Uuuh, uh
Musaayi gwa ggwanga
Uuuh, uh
Somesa eggwanga
Uuuh, uh
Musaayi gwa ggwanga
Uuuh, uh

Kale laba gwe nange
Bwe twesiimye twekulidde, uh
Tusonga bugalo mu bantu
Abeezimbye abeetegekedde, oh
Bakabala ne balinda enkuba
Lw’erijja beeterekedde, hmm
Baguma omusana ne bwe gwaka
Mukama abawaniridde, hmm
Ne bwe ziba nguudo
Zaakuzimbibwanga ba professional
Bwe ziba ntindo
Zaakuwangibwanga ba professional, eeh
Bwe giba misango
Kale gisalibwenga  ba professional
Bwe kuba kulwana
Kale tulwanyisenga ba professional

Balitindigga eŋŋendo empanvu
Balibayitako abazira
Gwe tobawaana nti wazaala banene nnyo
Ne batufuukira envubu
Bw’obabiibiita n’obakuza ekyejo
Byonna biri bayita mu ngalo
Balizannyanga balimenya n’essowaani
Okunyiiga kube nga kwa kigero

Weasel
Mukadde tosiba zikweya
Tosiba zikweya yadde enviiri zikusiiwuuse
Zikumyuse, topima bukoowu
Topima buwanvu wadde enviiri zikusiiwuuse
Zikumyuse gamba abaana bakole
Guno omulembe ssi gw’abatakola
Batemere empenda bonna bayige
Guno omulembe ssi gw’abataayiga
Ogamba nti wazaala bawanvu
Bawanvu nnyo ng’emivule
Ogamba nti wazaala b’amaanyi
Banene nnyo ba kiwago, hmm
The future starts today
Educate the youths today
Don’t you wait another day
We’re the children of today
The future starts today
Educate the youths today
Tomorrow is another day

The future starts today
Educate the youths today
Don’t you wait another day
We’re the children of today

Eli Arkhis Music