0:00
3:02
Now playing: Basima Ogenze

Basima Ogenze Lyrics by Jose Chameleone

Oh oh oh oh ohhh

Verse
Ebirungi tukola amakula geyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw′obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze

Bwemba sogera mazima ompabula
Njagala kuwabula so si kutabula
Waliwo ensonga enkute ku mutima
Ka njeyogerere sirina wakutuma

Lwaki omulamu bamunyooma
Newakola ebirungi bamufeebya
Oluusi bamulinda kufa ate nebawaana
So nga yaberangawo nga bamuvuluga

Nalina mukwano gwange Musisi
Ngasamba kapiira acanga kali
Nerweyagenda nalujukira luli
Kyannaku naye kituufu

Chorus
Ebirungi tukola amakula geeyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw’obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze

Verse
Nebwolikola ebirungi ebitapimika
Ng′oli mukwano gwa bangi okira ko malayika
Abasiima nga tebansangika
Oli munsonda nnya ebirungi babyoleka

Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Ye mbeera ya dunia abantu b’ensi bo webatyo
Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Tekisangika kusiima mulamu

Chorus
Ebirungi tukola amakula geeyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw’obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze.

Verse
Omwoyo gwegwanga lyaffe gwetaaga essaala
Tusiime ku baliwo nga tukyalina akaseera
Kusiima agenze kumala biseera
Anti nebwomusiima abeera ye tabiwulira

Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Ye mbeera ya dunia abantu b′ensi bo webatyo
Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Basiima ogenze

Chorus
Ebirungi tukola amakula geeyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw′obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze

Verse
Enguudo z’omu Kampala okutuma erinnya lyo
Ssebo omala kugenda (Basiima ogenze)
N′okumuyita omuyimbi omulungi
Kafeero yamala kugenda (Basiima ogenze)
Bongole Lutaaya olwamuzza e Gomba
Ebitiibwa netumuyiira (Basiima ogenze)
Togeza nodd’ebbali seruganda nawe bwotyo (Basiima ogenze)
Mwanadamu Mwanadamu Mwanadamu Mwanadamu (Basiima ogenze)
Mwanadamu Mwanadamu Mwanadamu (Basiima ogenze)
Mwanadamu Mwanadamu Mwanadamu (Basiima ogenze)
Mwanadamu Mwanadamu Mwanadamu (Basiima ogenze)