0:00
3:02
Now playing: Nzigulira

Nzigulira Lyrics by Jose Chameleone

Ooh oh ah
(Cha)Meleone na Paddy Man
Ooh oh ah
(Cha)Meleone, na Paddy Man

\n

Nali mmanyi alina ensimbi
Azigattako emikwano nga mingi, eh
Nti oyo aba takyajeera
Aba n’emikisa gye ng’era takyakeera
Nebwayoya akawumbi
Kabeera mu nsonda wali mu kisenge
Naye kati kyenzudde emirembe n’obulamu biba mu Katonda
Kati kati natadde ebyokunsi siivulubane
Kannoonye Lugaba anjune anzijukire
Ssebo nga tolina Katonda
Nebwoba n’emmaali tolina Katonda obulamu bunyiga

\n

Nsaba onnyanukule
Nina ebibuuzo bingi nsaba onzigulire (nsabye onnyanukule)
Emirimu gy’emikono gyange
Ayi Mukama nga mulimu emisanvu mingi (nsabye onnyanukule)
Ebikuba obulamu bingi
Mulimu lwennemererwa era (nsabye onnyanukule)
Kati kangoberere amakubo go ebintu bikyuke (nsabye onnyanukule)

\n

Waliwo lwendulunkana mu bulamu
Ng’olwo nnoonya ekigulira Magala eddiba
Sonyiwa taata
Bingi tukola tuteekamu tetwenkanya
Minzaani tuzikyambuwa
Ne byetutunda tebikyawera tupambana
Abantu baluvu
Ebibyo babisuulawo Mukama
Nsaba mpanirira
Mpanula ng’onzizaayo mu makubo go nnamula
Omukisa gwange nagwo gumpe
N’ebirime byange obifukirire

Jose Chameleone Singles