0:00
3:02
Now playing: Emirembe Ngalo

Emirembe Ngalo Lyrics by Mesach Semakula


Emirembe ngalo (Emirembe ngalo)
Emirembe ngalo ooh
Emirembe ngalo (Emirembe ngalo)

Osangako ku ndabirwamu yo
N'olamusaako ku b'ekyalo kyo
Abakuyinula mu kibuga
Balisima entaana yo nga tebali nayo
Sente mugenyi bugenyi leero ziri wuwo
Enkya ziri wa neighbour wo
Tezikuleeta kufunya bweenyi, ebyo bipapula
Lwaki otemula muno?
Zikolwa mulamu tewemalaamu
Gwe akyaali omuto kanya kalamu
Abantu basula bubi olaba ma farm
Nga naye agazibu gabazimbako enju
Abazirina bangi
Bazirekawo nebazikwa nga ababbi, ohhh
Eno ensi ekyuuka langi
Abalalu kunguudo baaliko mu masuuti

Siyeggwe asinga
Ezo sente zikulimba (Emirembe ngalo)
Abantu balina ebyaama lwakusirika
Balabye ebinene wamma (Emirembe ngalo)
Siyeggwe asoose
Obwo obuyinza bukulimba (Emirembe ngalo)
Abantu balina ebyaama lwakusirika
Balabye ebinene wamma (Emirembe ngalo)

Amalala n'ettima bikakanyeeko
Ensi ogigende mpola tezanyirwako
Olaba nebwonaaba enyotta obulwaako wano
Gundi asuza bikutiya, ye tafuna tulo
By'olimu siyeggwe asoose mukwano
Duniya mayengo tuli mu lyaato
Leero bwebitereera enkya tuli mu mwooto
Bwofuna toduula ensi ekuba kibooko
Bwonsookayo kanyuga ku kaguwa
Basikeko tobaleka kunafuwa
Kyotamaleewo gabira ku balala
Toyinza kukkuta ensi tetumala
Munywanyi weyise bulungi
Obulamu buzibu enkya bukyuuka langi, eeh

Siyeggwe asinga
Obwa celeb bukulimba (Emirembe ngalo)
Abantu bangi bayimba
ba Philly Lutaaya, Ssebaduka, Kafeero (Emirembe ngalo)
Siyeggwe asoose
N'abalala bakyajja (Emirembe ngalo)
Maradona olwavaawo Ronaldinho najja
Majid Musisi bakyaaka (Emirembe ngalo)

Abazirina bangi
Bazirekawo nebazikwa nga ababbi, ohhh
Eno ensi ekyuuka langi
Abalalu kunguudo baaliko mu masuuti
Zikolwa mulamu tewemalaamu
Gwe akyaali omuto kanya kalamu
Abantu basula bubi olaba ma farm
Nga naye agazibu gabazimbako enju
Bwonsookayo kanyuga ku kaguwa
Basikeko tobaleka kunafuwa
Kyotamaleewo gabira ku balala
Toyinza kukkuta ensi tetumala

Siyeggwe asinga
Ako akabina kakulimba (Emirembe ngalo)
Abantu balina ebintu lwakusirika
Balina ebinene wamma (Emirembe ngalo)
Siyeggwe asoose, eh
Ago amafigure gakulimba (Emirembe ngalo)
Oyo omukadde gw'olaba mapengo
Yaliko ndibaasa lumu (Emirembe ngalo)

Tokuba bantu nfuufu
Olw'okuba mukwano wagula akamotoko (Emirembe ngalo)
Obwo obuyinza bwokozesa 
N'amanyi gokozesa n'oduula nokamala (Emirembe ngalo)
Eyo emeeza kwotudde 
Gikozese bulungi obuyinza bugwawo (Emirembe ngalo)
Munange munange munange munange kakkana (Emirembe ngalo)


Mesach Semakula Songs