0:00
3:02
Now playing: Bwagamba

Bwagamba Lyrics by Mesach Semakula


Jangu tuwaye
Jangu tunyumyemu

Natandika okuyiiya obulamu
Nga ndi muto myaka kkumi na mukaaga
Nze ne nnyingira ekibuga
Noonye omukisa gwange Mukama gwe yampa
Bingi byayogerwa
Bangi baawakanya
Nze ne bangoba n’ewa taata
Nga bo bamanyi nayonooneka kyaggwa
Naye Katonda, yaliwo mu makubo gange
Nasulako amakaya
Nasulako mu bbaala
Towakana, ne tutambuza ebigere
Enkuba n’ekuba, naye Katonda
Yaliwo mu makubo gaffe wulira
Abasamaliya be nasanga
Mwenna mwebale, mwebale
Abbey Mukiibi mwantendeka mwebale
Wabula wancapa omusipi, ho!
Bannange bwe twazirunda
Mukulikeeyo mukulike nnyo ogugendo
Naye Katonda, Katonda
Ssebo Katonda bw’agamba

Bw’agamba on’oba, eh eh
Teri agamba toobe
Bw’agamba onaagaggawala
Teri agamba toogaggawale
Bw’agamba onozaala
Teri agamba tozaale
Bw’agamba onotuuka
Teri agamba totuuke, eeh eh

Bangi bambuuze
Okikoze otya okukikuba emyaka gyonna?
Kino kyendi, tekivudde ku mukeeka
Kivudde mu kutoba nnyo
Okusula n’okusiiba
Okukola obutaweera, eeh
Okwewa ekitiibwa
Okuwa abantu ekitiibwa, eeh eh
Okugumiikiriza
Okukola emikwano
Obwesigwa n’okutya Katonda, eh eh
Entalo ezitannyamba
Ezo sizirwana
Nazirekera Mukama y’alina amaanyi gange
Nze ndi munafu


Papa Timothy K
Walera weebale
My man Nsereko
Kabenge

Nzijukira ebiseera ebyo
Ebiseera ebyo, ebiseera ebyo
Ng’omuziki gwa kupambana
Situdiyo tulina ssatu
Radio tulina ssatu
Mpinga ne Nakachwa bakubuulire
Nagobwako nze mu kibiina
Ng’ate olwo Sekamatte ye star!
Gwe bw’oba owakana buuza Mitanda
Ssendi oba Virigo
Ronald Mayinja, ojjanga ne tulya
Kijana tuvudde wala
Geoffrey Lutaaya, ojjanga ne tunyumya
Sempa yatutigomya
Okwekkiririzaamu kikulu
Okuba omumalirivu kikulu
Okumanya ky’oyagala kikulu
Okwekolerera ky’ekisinga situka tukole


Kola
Kola
Hmmm
Ne bwe boogera ebingi kale manya, eeh
Katonda bw’agamba guma, teri awakana
Sitaani alina efujjo naye manya
Talina buyinza
Ne bwe giba myaka abiri
Ojja kufuna
Wummula mirembe Fred Maiso ooh oh
Dr. Tee tukyakalemu tuvudde wala eh eh eh
Judas ne Nana
Mulina kukola okuba obulungi, kimanye
Paddy Man kulikayo
Serugga kulikayo
Kato Lubwama weebale
Ndagire kulikayo  eh eh
Segawa kulikayo
Kavuma we, tumetoka mbali sana

Mesach Semakula Singles