Oseka ne nfuna ekizibu
Mwana gwe ontawaanya
Otunula ne ndaba ekimyanso
Naye, lwaki ombonyabonya?
Tunula mu maaso gange osome
Mulimu omukwano gwo
Ate oba ne mu bwongo bwange
Mulimu akatebe ko
Ne mu mutima gwange munda
Mulimu ekibanja kyo
Ky’ekyo ekimbonyabonya
Mwana gwe nkubuulidde nze
Nti mu bawala ba kuno
Noonyezza akwenkana yambula!
Nina omukwano mungi
Munnange byebyo bye nsuza
Alaali, alaali, alaali
Onkuba (onkuba)
Onkuba
Ngezezzaako okwegumya naye bigaanye
Onkuba hmmm yeah, onkuba
Nataka nikuone sasa sasa
Onkuba (onkuba)
Onkuba
Amazima laba laba oyaka ng’enjuba empya
Onkuba, onkuba
Nsonyiwa okulemerako mw’ekyo
Waliwo ekikusukkako
Mwana gwe wansukkako
Laba, mwana gwe wankubaakuba
Yanguwa, otuule
Mu katebe ko keereere
Era yanguwa, ozimbe
Mu kibanja kyo kyereere
Nabiterekera gwe wekka
Honey yanguwa olabe
Kuba walungiwa omu mu nsi
Gwe osaanira okuwa
Oli kibunoomu mu nsi
Gwe osaanira okulya ebyange
Alaali, alaali, alaali
Onkuba (onkuba)
Onkuba
Ngezezzaako okwegumya naye bigaanye
Onkuba hmmm yeah, onkuba
Malayika, malayika we
Onkuba, onkuba ayayaya
Bint, bint
Bint, bint
Onkuba, onkuba hehe!
Sabula
Sasa ni ngoja
Myaka mingi nina ngoja