Nkukubira kati tokyapickinga
Mpulira mbu kati wadda Mbarara
N’ebigambo mbiwulira
Mbu wafunayo omulala
Kansabe ogume n’oyo
Nneme kulwana na kukwerabira
Okuva lwe wafuluma omulyango
Wandeka mbunye biso mu mugongo
Mu kugenda tewayogera bigambo
Neegumya nga binsobedde mu kakuubo
Weebale wammalira ebiseera
Weebale wandeka mu kukaaba
Weebale mutima gwe watwala
Wagukomyawo mu bipapajjo
Leka neekaze, ng’atalumiddwa maama
Kyatule nti kyali kya kubeera
Neewale na buli gye nagenda
Nga tukyali mu mukwano
Gye nakwanjulanga
Talala talala talala hmmm
Aaaah
Zi hey love nzisindika n’ozibluetickinga
Nze eyalingawo ng’okoowoola
Nnoonya kye ntunuulira
Okwava obuzibu okundeka
Ne bwe nzibya omutwe nga ntakula
Ekyali kitugatta ng’abalongo
Gwali mukwano baby ssi bigambo
Ebyaliwo obisudde mu kiwonko
Bw’ofuba obiziike
Weebale wammalira ebiseera
Weebale wandeka mu kukaaba
Weebale mutima gwe watwala
Wagukomyawo mu bipapajjo
Leka neekaze ng’atalumiddwa maama
Kyatule nti kyali kya kubeera
Neewale na buli gye nagenda
Nga tukyali mu mukwano
Gye nakwanjulanga
Nga tukyali mu mukwano
Gye nakwanjulanga