0:00
3:02
Now playing: Bibuzabuza

Bibuzabuza Lyrics by Wilson Bugembe


Olumu ebintu bya Mukama
Bino nabyo bibuzaabuza
Eri abatamumanyi bambi
Bibalumiza ddala omutwe
N’amala ayogera enkola ze
Omera ne kanzunzu mukwano, aah
Olumu bibuzaabuza
Olumu ebintu bya Katonda
Mikwano bibuzaabuza
Eri abatamumanyi bambi
Bibalumiza ddala omutwe
N’amala ayogera enkola ze
Omera ne kanzunzu mukwano, aah
Olumu bibuzaabuza

Akulaga ekisenge n’akugamba nti waliwo ekkubo
Akulaga eyazeeyuka nti mulimu abaana mu nda ye
Akutwala ku nnyanja nti w’ewali erigenda ewammwe
Eeh eh, kale naatakuwa lyato
Akulaga namwandu n’akugamba oyo nze bba we
Agamba londa ejjinja okube Goliath
Ayenga amalusu mu nfuufu n’akolamu amaaso
Kale ebintu bye Yakuwa
Olumu bibuzaabuza

Omwami yagenda eri Yesu nga mulwadde
Nga yaziba amaaso
Yesu n’amubuuza nkukolereki mukwano?
Kyokka ondaba ndi muzibe naye ate ombuuza!
Kale ebintu bye musawo
Olumu bibuzaabuza
Yesu n’akwata enfuufu n’assaamu amalusu
Bwatyo n’abisiiga ku maaso g’omuzibe
Awo ne wabaawo omusawo amukuba n’oluyi
Yesu olina ogutima!
Amaaso ga munno laba n’akalaba okasse
Kuba amateeka g’obuyonjo mu nsi yonna ge gamu
N’omala olwala amaaso gakuume mayonjo
Gula ne galubindi tekugendako enfuufu
Laba ate omusawo Yesu asiizeeko enfuufu
Yiii ebintu bye Mukama!
Olumu bibuzaabuza

Munnaffe eyanona amaaso yaddayo anyiize
Omusajja aliko ogutima!
Amaaso gange laba n’akalaba akasse
Yesu n’agamba omuzibe
Gwe naaba amaaso vva mu ebyo
Muzibe n’amala gagonda n’anaaba amaaso
Okuva mu mugga muli laba ng’alina amaaso!
Bonna abaasoma obusawo awo we baakoma
Bwe baali basoma
Ekyo tebaakibagamba?
Nti enfuufu n’amalusu mubaamu amaaso?
Kale ebintu bye Mukama
Olumu bibuzaabuza

Munnaffe eyanona amaaso yaddayo asanyuse kuluno
Oba katugambe, yaddayo awunze
Mu nfuufu mmwe yazannyiranga mwalimu amaaso!
N’oluusi yawandangamu amalusu nga tamanyi taata
Nti ku maaso ge
Kwawanda amalusu
N’atuuza eŋanda ze n’aziwa oluyimba
Nti nsanze omusajja
Atema ewatali kkubo
Nti nsanze omwami
Atema ewatali kkubo
Nti nsanze omusajja
Atema ewatali kkubo
Nti nsanze omwami
Atema ewatali kkubo

Jjuuzi nafunye akakisa akatuula mu nnyonyi nange
Okusooka Musumba Sennyonga nali manyi asaaga
Okukwata omuntu owo kasasiro omutuuze mu nnyonyi!
Mikwano, nali manyi asaaga
Natuula mu nnyonyi, nali manyi ndoota
Nagiranga ne neesunangako
Bwe mba ndoota nsisimuke
Kale nina oluyimba
Atema ewatali kkubo

Olwo ne nzijukira bato bange abaafa
Mu nnaku ennyingi
Siriimu yaluma Denis awataali ssente
Nga tannafa, nzijukira lwe yampita
N’ambuuza Bugembe lwaki twazaalwa?
Okuzaalibwa ne siriimu nze atazza musango
N’aŋamba ka nfe ŋende eyo ewaliba essanyu
Kasita maama ne taata gyebali baatusookayo
N’aŋamba nkimanyi naawe essaawa yonna ojja kufa
Ebiseera ebyo, nga siggwaako galwadde
Hmmm, bwe yamala n’afa
Denis yandibaddewo n’alaba bino
Omwana oyo yandibaddewo n’alaba bino
Ku luguudo kwe nasabirizanga
Kwe nvugira emmotoka leero!
Nina oluyimba
Atema ewatali kkubo

Yandirabye ku Musumba Sserwadda ng’ankwasa ebirabo
Nina oluyimba
Atema ewatali kkubo
Abuusabuusa Mukama labira ku nze
Ani yali amanyi nti ndiva mu kasaati aka yellow?
Ani yali amanyi nti ndiwona engatto ez’ebituli?
Ani yali amanyi nti ndiwona okaabira abaafa?
Ani yali amanyi nti ndikoma okutambula nga nsamba ebipapula?
Nonde ekikumi!
Oli mukulu Mukama
Oli mpologoma ya Yuda tewali akwenkana
Oli kikolo kya Yezegu ayamba abaavu
Olaba ojjukira nange ensi gwe yasuula!
Nina oluyimba
Abaavu muddemu essuubi mugume
Nina oluyimba
Atema ewatali kkubo
Abuusabuusa Mukama labira ku nze!