0:00
3:02
Now playing: Njagala Nyo Mukama

Njagala Nyo Mukama Lyrics by Wilson Bugembe


Hmmm
Aaaah aah
Evans
Njagala nnyo Mukama
Njagala nnyo ansitule
Njagala angatte mw’abo
Baayita abaana be (hmmm aah)
Nange mmulabeko ng’akola
Nange mpeeko ku bujulizi
Njagala nnyo Mukama n’omutima gwange
Buli lwe mmulaba ku musaalaba
N’avumibwa n’akubwa
Laba bw’afuuka omusiru ku lwange omu
Eh! Abange yanjagala Mukama
Nange nsaanye mwagale
Mbeera mubi nnyo nnyo
Bwe ssiba wuwe, aaah ah
Naye ebikemo bingi
Buli lwe ndaba
Abawala bano abambala mini, bansanyusa
Oluusi ne ngwa mu bikemo
Emitego ngikole ntya?
Kuba Mukama mwagala
N’abawala mbaagala hahaha!
Bugembe
Kati eggulu ng’olisiibula (yerere maama)
Likubire bbaayi (maama)
Weeraba, ŋenze magombe
Omwoyo gwo obeera ogutunze (hmmm aah)
Katonda omugattika otya! (yerere maama)
Vva mu kyejo naawe
Tosobola kwagala nnyo Mukama
Nga n’ekibi okyagala!
Evans
Njagala nnyo Mukama
Njagala nnyo ansitule
Njagala angatte mw’abo
Baayita abaana be (uuh aah)
Nange anwanire ku ntalo
Ziri ewange zimmenya
Njagala nnyo Mukama n’omutima gwange
Buli lwe ndowooza ku ggeyeena
Ne mpulira nga ntya
Olaba eryanda wano linkubya enduulu! (aah)
Ate ogwo omuliro ogutazikira!
Nze ngutya mwana wange
Njagala nnyo Mukama
Amponye okwokebwa, aaha ha!
Naye ate akenge kano
Bwe bulamu, heehehe
Mu ggiraasi kankubya amameeme (uuh aah)
Ate Mukama mbu tayagala lujuuju
Ye nze n’akola ntya?
Kuba Mukama mwagala
N’akenge nkaagala!
Bugembe
Kati eggulu ng’olisiibula (yerere maama)
Likubire bbaayi (maama)
Weeraba, ŋenze magombe
Omwoyo gwo obeera ogutunze (hmmm aah)
Katonda omugattika otya! (yerere maama)
Vva mu kyejo naawe
Tosobola kwagala nnyo Mukama
Nga n’ekibi okyagala!
Evans
Nkola na maanyi, ssifuna
Boss y’atwala ennyingi
Nange mmubaliza wano
Mu kkuba enjawulo
Ate Mukama mbu tayagala babbi
Ye nze naakola ntya?
Kuba Mukama nkwagala
N’enjawulo empoomera
Bugembe
Kati eggulu ng’olisiibula (yerere maama)
Likubire bbaayi (maama)
Weeraba, ŋenze magombe
Omwoyo gwo obeera ogutunze (hmmm aah)
Katonda omugattika otya! (yerere maama)
Vva mu kyejo naawe
Tosobola kwagala nnyo Mukama
Nga n’ekibi okyagala!
Both
Naye mbuuza
Mubaawo mutya eyo? (hmmm)
Nze bwe mba stressed
Ŋendako mu disco
Olwo bw’okuba endongo
N’osala endongo
N’ofuna eddembe mbuuza?
Ne mu kkanisa waliyo endongo
Ate ne Yesu abeerawo
Naye ku nze, akenge kano bulamu (aah)
Bwe nkavaako bwenti
Ssiikutuke ne nfa? (eeh eeh)
Awo awajjula omwenge
Jjuzaawo Katonda olifuna eddembe Chris
Tosobola kwagala nnyo Mukama
Nga n’ekibi okyagala!
Kanfube nsabira Pastor, aah naawe
Tosobola kwagala nnyo Mukama
Nga n’ekibi okyagala!