Sister yegaanye Yesu baamuwa chapatti
Njagala kumanya
Laba ono atunda mubiri gwe nti afune akasimu!
Njagala kumanya
Obudde buziba nga tolina kasimu ozuukuka okafunye
Njagala kumanya
Yesu n’abuuza ba malayika aggyewa akasimu oyo?
Njagala kumanya
Ne baddamu tubadde tugenda muwa
Tusanze yafuna
Njagala kumanya
Baba bali awo nga sister agguse ku Sunday
Abooluganda neebatha Yethu yampadde akathimu
Yesu aba awanika omukono ne tukuba enduulu
Mulindeko lw’alifuna chance alongoose Ekkanisa
Abooluganda munansonyiwa nze Yesu nkooye
Oyo Jane ampaayiriza ssinamuwa kasimu, hmm hmmm!
Era engalo ezo muziddemu muzikubire Thomas
Baba bali awo nga ne sitaani agguse ku Sunday
N’atambula very smart ppaka wa Yesu
Yesu ononsonyiwa nze sitaani mpolereza Jane
Omwana oyo yakusaba akasimu mu gw’enkumi bbiri
Bwe twalabye tokamuwa
Sitaani ne Thomas ne tumuwa akasimu
Naye nange muli mpulira nkooye
Abaana bo abo bwe mbawa ebyange
Ate bawaana gwe
Ajja ewange ne mmuwa omwana mu mutima mulungi
Ne ntuula eka nninde erinnya bamutuume Lucifer
Mba ndi ewange ŋenda okuwulira omwana ye Purity
Nange nkooye, hmm hmmm!
Mukama njagala kumanya
Kwata ekisimu
Mukama njagala kumanya
Kwata ekisimu ekiringa ettaffaali nga Mukama akimanyi
Beera n’enviiri eza kaweke nga Yesu azimanyi
Njagala kumanya
Oyo seminti asinga omufaliso okutali Mukama
Njagala kumanya
Kwata ekisimu ekiringa ettaffaali nga Mukama akimanyi, eh eh
Njagala kumanya
Njagala kumanya
Nafunye ennyonta
Njagala kumanya
Nga ne mu bwavu nsigala ndokoka
Njagala kumanya
Ekikulu afuga
Njagala kumanya
Wewaawo sirina ssente
Njagala kumanya
Naye Mukama afuga
Njagala kumanya
Nandiba nga sirina mmotoka
Njagala kumanya
Luliba olwo ndifuna
Njagala kumanya
Nandiba nga sirina mwana ku nsi
Njagala kumanya
Naye ekikulu afuga
Njagala kumanya
Ne mu bulwadde nsigala ndokoka
Njagala kumanya
Ne mu bugagga nsigala njatula
Njagala kumanya
Nafunye ennyonta
Njagala kumanya
Mpulira njagala kumanya
Njagala kumanya
Mu njiri yo temwalimu visa
Njagala kumanya