Mukama Njagala Kumanya Lyrics by Wilson Bugembe


Mukama njagala kumanya
Mukama njagala kumanya
Mukama njagala kumanya
Mukama njagala kumanya
Nnyimbye ennyimba nnyingi mu nsi eno
Mukama njagala kumanya
Nnyimba zinyize ebiwundu ku mitima gy’abantu
Njagala kumanya
Naye mu luno nina essaala
Njagala kumanya
Nazuukuse nga nina ennyonta ssebo Mukama
Njagala kumanya

Nakusaba nti bw’olimpa emmotoka nga mpummula
Njagala kumanya
Nvuze emmotoka nnyingi era tewali njawulo
Navuga esooka, eyokubiri, eyokusatu nkyetaaga oh
Olabika osinga emmotoka ssebo Mukama ooh oh
Mukulu Yobu endogoyi ze zaagenda!
Yobu abaana be baagenda!
Yalina ensonga okukuvuma naye teyakikola
Alabika yalina ekyama ekisinga abaana
Ku mulembe guno ofiirwa omwana Yesu omwegaana
Erisa baamuwa feeza naye yamugaana
Nayamani yamuwa zaabu Erisa yamugaana, ooh oh
Ku mulembe guno bakuwa zaabu Yesu omwegaana
Mukama njagala kumanya
Alabika yalina ekyama ekisinga feeza
Mukama njagala kumanya

Ffe tulokoka mmotoka
Ssi kukwetaaga
Njagala kumanya
Kati tulokoka bugagga
Ssi kukwetaaga
Njagala kumanya

Nali mmanyi bw’ogenda e London ng’ensi ogimaze
Njagala kumanya
Ndabye bangi abamenyese emitima babammye zi visa
Njagala kumanya
Natuuka e London eeh nga nabo balinga ffe
Njagala kumanya
Nabo bawanika emikono nga ffe wano
Nabo bakwetaaga
Njagala kumanya
Nasanga musumba Hakim ng’atenda gwe (ooh)
Njagala kumanya
Nasanga musumba Lincoln ng’awaana gwe (eeh)
Njagala kumanya
Ne be twegomba mu nsi eno nabo bakwetaaga
(Ssebo Mukama)
Muzeeyi Yokaana abadde mugagga
Ng’alina ensimbi nnyingi
Yokaana tetumanyi gye yajja siriimu
N’asasula abasawo aba buli kika era byagaana (oh)
Olabika osinga essente ssebo Mukama, aah!

Njagala nkumanye
Mukama (ooooh)
Muli nafunye ennyonta njagala kumanya
Njagala nkumanye
Ssebo oh
Muli nafunye ennyonta njagala kumanya, oh

Sister yegaanye Yesu baamuwa chapatti
Njagala kumanya
Laba ono atunda mubiri gwe nti afune akasimu!
Njagala kumanya
Obudde buziba nga tolina kasimu ozuukuka okafunye
Njagala kumanya
Yesu n’abuuza ba malayika aggyewa akasimu oyo?
Njagala kumanya
Ne baddamu tubadde tugenda muwa
Tusanze yafuna
Njagala kumanya

Baba bali awo nga sister agguse ku Sunday
Abooluganda neebatha Yethu yampadde akathimu
Yesu aba awanika omukono ne tukuba enduulu
Mulindeko lw’alifuna chance alongoose Ekkanisa
Abooluganda munansonyiwa nze Yesu nkooye
Oyo Jane ampaayiriza ssinamuwa kasimu, hmm hmmm!
Era engalo ezo muziddemu muzikubire Thomas
Baba bali awo nga ne sitaani agguse ku Sunday
N’atambula very smart ppaka wa Yesu
Yesu ononsonyiwa nze sitaani mpolereza Jane
Omwana oyo yakusaba akasimu mu gw’enkumi bbiri
Bwe twalabye tokamuwa
Sitaani ne Thomas ne tumuwa akasimu

Naye nange muli mpulira nkooye
Abaana bo abo bwe mbawa ebyange
Ate bawaana gwe
Ajja ewange ne mmuwa omwana mu mutima mulungi
Ne ntuula eka nninde erinnya bamutuume Lucifer
Mba ndi ewange ŋenda okuwulira omwana ye Purity
Nange nkooye, hmm hmmm!
Mukama njagala kumanya

Kwata ekisimu
Mukama njagala kumanya
Kwata ekisimu ekiringa ettaffaali nga Mukama akimanyi
Beera n’enviiri eza kaweke nga Yesu azimanyi
Njagala kumanya
Oyo seminti asinga omufaliso okutali Mukama
Njagala kumanya
Kwata ekisimu ekiringa ettaffaali nga Mukama akimanyi, eh eh

Njagala kumanya
Njagala kumanya
Nafunye ennyonta
Njagala kumanya
Nga ne mu bwavu nsigala ndokoka
Njagala kumanya
Ekikulu afuga
Njagala kumanya
Wewaawo sirina ssente
Njagala kumanya
Naye Mukama afuga
Njagala kumanya
Nandiba nga sirina mmotoka
Njagala kumanya
Luliba olwo ndifuna
Njagala kumanya
Nandiba nga sirina mwana ku nsi
Njagala kumanya
Naye ekikulu afuga
Njagala kumanya
Ne mu bulwadde nsigala ndokoka
Njagala kumanya
Ne mu bugagga nsigala njatula
Njagala kumanya
Nafunye ennyonta
Njagala kumanya
Mpulira njagala kumanya
Njagala kumanya
Mu njiri yo temwalimu visa
Njagala kumanya