My people, people of the land!
Abazzukulu nabagamba ntya?
Abazzukulu nabagamba ntya?
Oluzzi olwali wano lwalaga wa?
Omuzzukulu bwanambuuza ekibira ekyali wano kyalaga wa?
Namugamba ntya?
Munnyonyole ntya sente ezimulwanya zezasaaya ekibira
Munnyonyole ntya kibuga kiramba kyekyaseenza entobazi
Zaseenga wa?
Baziteesako mu lukiiko zisanyizibwewo bagule emmotoka
Mwalimu n′okukaaba n'okusomoozebwa kwa bakuumi b′obutonde
Nnyaffe munyiivu
My people, people of the land!
Abazzukulu nabagamba ntya?
People of the land!
Abazzukulu nabagamba ntya?
Kamese tambula, kamese tambula
Omuti ogwali wano gwalaga wa?
Kamese tambula, kamese tambula
Oluzzi olwali wano lwalaga wa?
Kamese tambula, kamese tambula
Entobazi ezaali wano zalaga wa?
Kamese tambula, kamese tambula
Obuntu bulamu bwalga wa?
Let us take responsibility
Let's awaken nature
Ebiro bikyuuse
Enseenene zikulukutidde mu bitungotungo
Nga bwekyali mu ntandikwa
Buli aseenga watalina kubeera wakuvumbagirwa
Abazzukulu baakusasula, amabaanja ga bajajja baabwe
Kamese tambula
Obuntu bulamu bwetwalina, bwagenda wa?
Baabuteesako mu lukiiko busaanyizibwewo bagule amanda agafumba
Mwalimu n'okukaaba n′okuyiwa omusaayi gwabakuumi b′obutonde
Nnyaffe munyiivu
My people, people of the land!
Abazzukulu nabagamba ntya?
People of the land!
Abazzukulu nabagamba ntya?
Kamese tambula, kamese tambula
Omuti ogwali wano gwalaga wa?
Kamese tambula, kamese tambula
Oluzzi olwali wano lwalaga wa?
Kamese tambula, kamese tambula
Entobazi ezaali wano zalaga wa?
Kamese tambula, kamese tambula
Obuntu bulamu bwalga wa?
Bulungi bwansi
Era nze nawe tugende tukole
Ow'enkumbi, ensuululu tuzijeyo
Tugende tugogole
Wolaba ekinnya, teeka w′omuti
Tugende tulime
Nkoba za mbogo zajja zokka mu bunnya, mu bunnya ohhhh
Tugende tugogole ennyanja
Enkera tulye ku kyenyanja
Ebinyonyi bisigadde wa baaba
Tweyambisenga engeri endala ezifumba
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi
Kenneth Mugabi