Bamuyita Yesu Lyrics by Wilson Bugembe


Bamuyita Yesu
Bamuyita Yesu

Eeeh nali muto kati nkuze
Ne bye ndabye bingi
Ssiryelabira luli olunaku
Lwe twaziika mummy ne daddy
Emiranga ngijjukira
Abantu basaasira ffe
Buliba butya obwana bwa Betty?
Obwana bwe abulese buto
Nasooba mpola ne ŋenda mu bitooke
Ewa jajja ne nkwegayirira
Mukama yadde mummy agenze
Ne nkusaba onfuukire mummy
Ewataali daddy
Taata ne nsaba onfuukire daddy
Era wawulira, wawulira
Kati laba gyendi

Ddala yali ani oyo eyampanirira
Nga mummy agenze?
Bamuyita Yesu
Era yali ono oyo eyafuuka
Daddy awataali daddy?
Bamuyita Yesu
Yali ani oyo eyannyamba ewataali ssente?
Bamuyita Yesu
Era yali ani oyo eyafuuka
Umbrella ng’enkuba etonnya?
Bamuyita Yesu
Ooh oh, eeh, oh ooh
Bamuyita Yesu
Bamuyita Yesu

Eno gyetuli wanene
N’ebitulumba binene
Laba gyetuli wakulu
N’ebitulumba bikulu
Oba ng’omuyembe ogwengedde waggulu ku muti
Buli agulaba ayagala kugunoga
N’alina enkonyogo ayagala kugukuba
Ndabye emitego mingi
Ndabye obusaale bungi
Ssiryerabira guno omwaka oguwedde
Sitaani yasindika
Yasindika eggana ly’abawala
Buli akulaba ayagala kumuwasa
N’akuzaala ayagala kumuwasa
N’otya, n’otya, eh eh eh!
Mulala yagamba ndi wa kumuwasa
Bwe ssimuwasa nti ngya kufa enkya
N’agattako no n’okunvuma
N’okuwemula n’okweroza
Yali serious ayagala kumuwasa
Laba emizimu egiramuza future yange!
Nalaba omubi
Ng’amalawo obulamu bwange
Nange natya
Nali manyi mpedde
Nalaba omubi
Ng’amalawo future yange

Naye yali ani oyo eyampanirira
Bwe nali ntidde?
Bamuyita Yesu
Era yali ono oyo eyakwata
Emmundu n’akuba omulabe?
Bamuyita Yesu
Era yali ani oyo eyakasuka omukono n’ampanirira?
Bamuyita Yesu
Yali ani oyo tuwanike emikono tumuwe ettendo?
Bamuyita Yesu
Ooh oh, eeh, oh ooh
Bamuyita Yesu
Ooh oh, eeh, oh ooh
Bamuyita Yesu

Kati maama ndagula gy’oli
Gwe totya bigugumuka?
Teri kya kulwanyisa gy’oli ekinaalaba omukisa
Ssiryerabira lwe twalina ebbanja
Gwe buuza abantu b’e Nansana
Abantu baajerega ffe
Kakanisa kaabwe kaweddewo luno
Bukyanga bwepanka
Obulokole bukyanga bwewaana
Nange natya kkanisa nali manyi ewedde!
Nange natya, buuza ab’e Nansana
Kati maama ndagula gy’oli
Teri kya kulwanyisa kiweesebbwa gy’oli
Gwe ky’okola weesige Mukama
Mwesige totya bigugumuka
Kabaloge, kabaloge
Teri ddogo eri Israel
Basooze, kabavume
Mukama anaabeera naawe
Ndabye emitego mingi
Ndabye n’obusaale nga bungi
Mukama abadde nange
Kati naawe anaabeera naawe
Tuyimbe, tusinze
Tusinze

Ddala yali ani oyo eyampanirira
Bwe nali ntidde?
Bamuyita Yesu
Tukusinza Yesu
Tukusinza Taata
Tukusinza Yesu
Tukusinza Taata
Yerere maama
Yerere maama
Yerere
Yerere maama