Omaze akabanga nga wenna wepanka
Nga nkusangasanga naye era nga wemiima
Ngaka message okalaba n’okatickinga
Okasoma, ate bw’okamala nodeletinga yiiyi!!!
Nga nze nkanya kunywezaamu
Kakodyo kange butaggwamu
Nga buli lwe mmanya nti ojja eno
Nyongeramu n’aka perfume
Olwo ne nkumeetinga
Nkubuzaako ne sikwewa nnyo
Nga naye nze era mmanyi
Nti oli mu kkubo ojja
Nga buli wembeera
Mbeera nkulaba nga nze gw’olojja
Kubanga bankuza
Ooh tebankuzaakuza
Era ne bwewekoza
Hmmm yadde weekozaakoza
Nze maama yankuza
Ooh teyankuzaakuza
Byenina mbyesiga
Eeh nabyesigaliza
Bannange bankuza
Ooh tebankuzaakuza
Era ne bwewekoza
Hmmm yadde weekozaakoza
Nze maama yankuza
Ooh teyankuzaakuza
Byenina mbyesiga
Eeh nabyesigaliza
Tuula, kkalira, kakkana nkuwe ku byentegese
Zuula, noonya kuba eriyo bingi byenterese
Noonya, ggulawo buli luggi
Lya ku luwombo, ate enkya olye ku ggi
Vva ku mulyango, empewo eyitiridde
Oli ku bwongo bwange weetuulidde
Naye nsaba kubuuzaamu
Ka sukaali keeko oba twongeremu?
Otera okubiibyamu?
Oba ggwe oyagala kuwummulamu?
Ye otera okunywaanywamu?
Ndeete akagiraasi tusseemu
Nze kuba mbadde manyi nti oli mu kkubo ojja
Nkugambye ebyange baategeka baabisengejja
Baabalimbanga na Cap ebyo ewaffe tebyaliyo
Twasuzanga menvu ky’ova olaba twanoga
Ffe munnange twajjuza
Ebyo by’olimu mbu abaana beetala
Ye ne bwebetala
Ooh tebakkuzaakuza
Twakulira mu kkooti bwe baloopa tuwoza
Ne bwe weebuzaabuza
Wenna nga weekoza