Oh ddala Yesu ammanyi
Amanyi erinnya lyange
Ssimwesibaako bwesibi
Ono amanyi erinnya lyange
Ddala Yesu ammanyi
Amanyi erinnya lyange
Mu mukwano omungi
Ampita ampita erinnya
Oh ddala Yesu ammanyi nze
Amanyi erinnya lyange
Ssimwesibaako bwesibi nedda ooh
Ono amanyi erinnya lyange
Ddala Yesu amanyi
Amanyi erinnya lyange
Mu mukwano omungi
Ampita ampita erinnya
Ensi eno etukooya
Nga tunoonya okwagala
Ne wabaayo oyo gw’ofiirako
Nga takuliiko
N’omuyita amannya agasinga
Darling, honey
Naye ng’akudduka buddusi
Kyova olaba njagala Yesu
Kubanga nze anjagala
Ne bw’ozirika abaawo
Ne bw’okaaba takuleka
Ye mukwano afaayo
Buli mbeera Yesu abeerawo
Ŋumye ŋumye
Kati ekijja kijje
Kuba Yesu
Nze bwaba ampita
Ampita erinnya
Oh ddala Yesu ommanyi nze
Amanyi erinnya lyange
Ssimwesibaako bwesibi nedda nze
Amanyi erinnya lyange
Yesu amanyi
Amanyi erinnya lyange
Mu mukwano omungi
Ampita ampita erinnya
Oh Yesu ammanyi
Amanyi erinnya lyange
Ssimwesibaako bwesibi nedda ooh
Amanyi erinnya lyange
Ddala Yesu ammanyi
Amanyi erinnya lyange
Mu mukwano omungi
Bw’ampita ampita erinnya
Ne bw’okwata essimu n’okuba
Omuntu gw’oyagala
Bamanyi okukyuka n’abuuza
Ddala ani ono akuba?
Abange kiruma, kiruma
Nga gw’oyagala akusamba eri
Naye Yesu abeerawo abange
Nga tewali asobola
Nze kati ŋumye
Sirina kinantiisa nedda
Nina empologoma empambaatira
Omutima ne guguma
Bw’ompita erinnya
Ebizibu biggwawo
Kuba mpulira
Nga nina omunene
Asinga abalala
Oh ddala Yesu amanyi
Amanyi erinnya lyange
Ssimwesibaako bwesibi nedda nze
Amanyi erinnya lyange
Yesu amanyi
Amanyi erinnya lyange
Mu mukwano omungi
Bw’ampita ampita erinnya
Tokaaba
Tosinda
Alikuyimusa n’akuggya mu nfuufu
N’akutuuza n’abalangira
Alikuggya ku lubungo kw’otudde
N’akutuuza n’abanene
Kuba akumanyi
Erinnya lyo, Yesu alimanyi
Eh, ampita mmunye ya liiso lye
Ampita muzaana we
Ndi mukwano gwe
Era ndi mwana we
Ndaga aaah kiki ekirimalawo omukwano?
Omukwano gwe nina bw’aba ampita
Ampita erinnya
Yesu amanyi
Amanyi erinnya lyange
Nedda, ssimwesibaako bwesibi
Ono ammanyi
Amanyi erinnya lyange
Mu mukwano omungi
Nze bwaba ampita
Ampita linnya
K’obeere Majo
K’obeere Paddy
K’obe Babirye
K’obeere Mukasa
K’obe John
K’obe Umar
Mukama akumanyi
Gamba nti ammanyi
Amanyi erinnya lyange
Mu mukwano omungi
Bw’ampita, ampita erinnya