0:00
3:02
Now playing: Ampisaawo

Ampisaawo Lyrics by Rema Namakula


Brian Beats

\n

Awo woova
Nga tomanyi gy’ogenda
Amaziga go
Obulumi bwo
Ng’emigugu ogiwulira gikuyinze
Owulira ofa
Olina amaloboozi
Gakubuzaabuza amaloboozi
Mu maloboozi ago
Londamu erigamba nti osobola
Fuba oddemu amaanyi
Yimirira, ogambe nti osobola

\n

Ampisaawo awo
Ooh mpitawo awo
Ampisaawo awo
Ooh mpitawo awo
Ampisaawo awo
Ooh mpitawo awo
Ampisaawo awo
Nzikiriza, mpitawo awo

\n

Awo mu kkoona we wasibira
Wazibu nnyo (wazibu nnyo)
Nze nkulaba nga wawanika, n’olemerawo (hmmm)
Gye wakwata wabula
Komawo eno n’akulera
Guma nywera ku kkubo
Toseerera nno n’ovaako
Amaanyi g’oyo akuli mu bwongo
Ge maanyi go ooh
Ye Katonda wo, takulekerera
Gwe mwekwate eeh

\n

Ampisaawo awo
Ooh mpitawo awo (mu muliro)
Ampisaawo awo (ng’ennaku nnyingi)
Ooh mpitawo awo (nga bigaanye)
Ampisaawo awo (bonna nga bagenze)
Ooh mpitawo awo (ampisaawo awo)
Ampisaawo awo (eeh eh)
Nzikiriza, mpitawo awo

\n

Dda ku maviivi (ku maviivi)
Nnyweza essaala yo (musabe)
Yogera naye, mugambe ssebo
Sumulula omukisa
Gabirira emikono gyange
Nfune, mu ntuuyo zange ssebo
Obudde kabukye, kabuzibe
Nga ndaba omukisa

\n

Ampisaawo awo
Ooh mpitawo awo
Ampisaawo awo
Ooh mpitawo awo
Ampisaawo awo (eeeh)
Ooh mpitawo awo (eh yeah, eh yeah)
Ampisaawo awo (oooh)
Nzikiriza, mpitawo awo

\n

Ampisaawo awo
Ampisaawo awo oh
Ampisaawo awo
Nzikiriza, mpitawo wonna