0:00
3:02
Now playing: Bombclat 3

Bombclat 3 Lyrics by Ykee Benda ft. Jim Nola


Bad guys
Envubu ku land
Jim Nola MC
Ykee
Abedunego babe
Nessim Pan Production

Jim Nola
Abalina bu sukaali bangi naye akange kakira
Keeko, bwe nnyongeramu mba ŋenda tabula
Setaaga designer bano okubambalira
Nnyini bessa mu butaala nga Rema ku kwanjula
Bad mind system komamaayo
Nnumbye nga Yesu mbalabise nga Matulumaayo
Katonda yatonda Adam ne Kaawa
Bomboclat gwe agamba mbu Adam ne Ssekatawa

Ykee Benda
Bomboklat to the bad mind there
Bomboklat hmmm
Bomboklat to the bad mind there
Bomboklat, bombo klat
Ba mulyabuto bomboklat
Every lazy citizen bomboklat
Lazy politician bomboklat
Nammwe abatasasula bomboklat

Jim Nola
Buli musajja akikuba emabega we waliyo omukyaala
Bomboclat nga gwe musajja y’akuli emabega
Bomboclat gwe paasita afera endiga
Lesson ndeese yiyo leero paasita yiga
Gwe politician asuubiza empewo
Gyoli tukobere mbu ebbugumu liriwo!
Wasuubiza okutuwonya bad life
Naye okulaba ku good life twakoma ku duo
Bomboclat gwe ng’olugambo lwa nkusu
Ng’okukyusa langi teweetaaga Maama Lususu
Bomboclat abatemu mbawanda lulusu
Naddala mmwe abaamizisa Radio omukka omusu
Bomboclat asuula mu ttooyi abaana
Ng’omugumba akaabira Mukama ng’ekinyonyi mpa abaana
Bomboclat nga bw’ofuna amaja
Gakulwaza amnesia ne weerabira ba kijaana
Bomboclat be tubanja ne mutuluma
Temusuubirayo nti munaafa ne mutuluma
Ssaawa ya maziga ŋenda baabya
Hater ne bw’abeera mukulu nga Willy Mukaabya
Abo ba user
Bwe bafuna kye baagala nga bayuza
Kuba ssi y’aba y’akkuza
Banyumirwa oli looser
Manya bw’ojaguza kibafumita nga biso bya ba Yakuza
Yeah yeah

Ykee Benda
Bomboklat to the bad mind there
Bomboklat hmmm
Bomboklat to the bad mind there
Bomboklat, bombo clat
Abasabiriza
Bomboklat
Mutukola bubi
Bomboklat
Ba pastor abafere
Bomboklat
Mukiyiye nnyo
Bomboklat

Jim Nola
Bomboclat gwe presenter eyagaana
Ozannya ennyimba zange mbu oyagala ssente
Kati mmanyi olumwa kuba zikuba ku buli radio
Nga Maama Afuswa e Nateete
Bomboclat wagamba sijja kumalako
Abedunego ng’ekyangwe najja kumalako
Bomboclat buli angeya nfuuka baaba wo
Kubanga bwe mbeera siriiwo onzirako
Gwe atunuza abato mu mbuga ya sitaani
Kale nnyoko yandizaddemu ndiizi ne tulya pan
Bomboclat amma bannansi emirimu
N’agiwaamu abachina akina bajapaani
Bomboclat dictator
Nawe sexy eyegabangula ng’agamba dick tetta
Bomboclat agamba mbu hip hop yafa
Listen to Abedunego babe and thank me later, ne!

Ykee Benda
Bomboklat to the bad mind there
Bomboklat hmmm
Bomboklat to the bad mind there
Bomboklat, bombo klat
Ba mulyabuto bomboklat
Every lazy citizen bomboklat
Lazy politician bomboklat
Nammwe abatasasula bomboklat

Ykee Benda Singles