0:00
3:02
Now playing: Bombclat 8

Bombclat 8 Lyrics by Ykee Benda ft. RingRapper


Bad Guys
He, a Ring Rapper
Check microphone
Check microphone
Ykee
Black Scarf Entertainment
Nessim Pan Production

Ring Rapper
Time to prove anti yemmwe abakitandika
Abeeyita abasajja mwana n’abavubuka
Abeewa obukulembeze ne busesebbuka
Still young naye nze akulembera ekika
Eh! Bomboclat gwe peace taker
Gwe beesiga okukiika n’omenya amateeka
Nkyogera mu lwatu ojja bulwa akuziika
Ring Rapper Ratata eŋŋoma ngiri mu bukiika, ttaa!!!

Ykee Benda
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat hmmm
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat, bomboclat
Ba mulyabuto bomboclat
Every lazy citizen bomboclat
Lazy politician bomboclat
Nammwe abatasasula bomboclat

Ring Rapper
Sharp killer one, two nze mbeera naakatandika
Yenze Ring Rapper Ratata atali makanika
Lwa kusirika ebigambo nina bingi
Maja ninamu era kati mbala siringi
Yingira bw’oyingira ng’oggalawo oluggi
Abo baveeko just eyo faagi
Yita Ykee yita n’oli GNL
Ajje anone amaja ge wano mu garage
Nze ndi ku podium ate nze judge
Nkuba amaraapu nkirako tteke ne Wu Jing
Am the future mi ah bad mi the past
Am the first me I can’t be the last
Am strong come check on my chest
Am the real star am the best
Am the best
A Ring Rapper Ratata am the best
I woke up in the morning the worst thing lucky
Narrating all the tales that felt funny
Rolling in the game we the big dream
Nga sente tewali but I still had it
Or I felt it
And you heard me
Just like a big door
It’s my yard know it
Oh I shine hommie
It’s a Ra me me
A Ri-ng Ra-pper
Forever young blood

Ykee Benda
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat hmmm
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat, bombo clat
Abasabiriza
Bomboclat
Mutukola bubi
Bomboclat
Ba pastor abafere
Bomboclat
Mukiyiye nnyo
Bomboclat

Ring Rapper
Bomboclat anyooma muzadde wo
Ojja kwejjusa kirikuluma nnyo ng’avuddewo
Tambula dduka dduka ddako ewaka akusangewo
Bw’oba olina akanaamusanyusa nako omuweerewo
Obuwonvu n’obusukko bwonna bwonna y’akibaddewo
Run for mum blood yanguwa omubongeko
Nze nindiridde owange nga tanatuuka
Ankubizza n’ekikalu nze atali bulooka
Nnyabo anzaala ankwata ng’ekyatika
Ndibeerawo nkulwanire embeera ne bw’ekyuka
Gwe eyaliwo atalindeka nga ndwadde obwoka
Nkusuubiza ebisingako mu guno omwaka
Mu nsi enetooloovu eringa olupanka
Endwadde zannuma naye era ne nsimattuka
N’ombudaabuda ne mu mpewo n’ombikka essuuka
N’omponya oggwa ku ddongo era n’ongiwamu decker
Ng’ensanjabavu enkutte tewandeka era wampeeka
Wansitulanga, wandera omponye okulya ettaka
Wannywesa eddagala endwadde nnyingi zassuuka
Wampepetta wankubadde bangi baaseka
Weewolanga ne nsoma mummy n’otoba ne FINCA
Nasobyanga n’ogunjula embooko n’enyooka
Nkwesungira ddala nkulindiridde ku Park
Nina okukwambaza mummy nkuyimbenga ne mu Nkuuka

Ykee Benda
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat hmmm
Bomboclat to the bad mind there
Bomboclat, bombo clat
Abasabiriza
Bomboclat
Mutukola bubi
Bomboclat
Ba pastor abafere
Bomboclat
Mukiyiye nnyo
Bomboclat, eeh!

Ykee Benda Singles