Amaaso G'otulo Lyrics by Kenneth Mugabi


Amaaso g'otulo
On'omwana gantunuliza
Gansikiriza nze gansikiriza
Engeri gyagamoola ganyuma
Okutunuulira
Gwe moola, maama moola
Agawerekera akaseko
N'otuyana wenaaa

Amaaso g'otulo
Galimu ekimansuka
Ekikutuuyanya galimu ekibuguma
Wansi w'enjuba galimu ekimyanso
Aaaaaahh maaso ago
Amaaso g'otulo
Galimu ekimansuka
Ekikutuuyanya galimu ekibuguma
Wansi w'enjuba galimu ekimyanso
Aaaaaahh maaso ago

Amaaso g'otulo
Bwegakutunuulira
Gakwambusa amayengo
Nga totegedde
Gakufuula baby
Neweemoolamoola
Kyokka amaaso ago
Bw'onyiiga omwenya
Nga ogalabyeko galiii
Gakutunuulira
N'otenda omutonzi
Aaamaaaso ago

Amaaso g'otulo
Galimu ekimansuka
Ekikutuuyanya galimu ekibuguma
Wansi w'enjuba galimu ekimyanso
Aaaaaahh maaso ago
Amaaso g'otulo
Galimu ekimansuka
Ekikutuuyanya galimu ekibuguma
Wansi w'enjuba galimu ekimyanso
Aaaaaahh maaso ago

Amaaso g'otulo
Mulimu bufeeza obwekwese muli
Ndowooza bu zaabu bwebwagafuula bwegatyo
Mumaaso g'otulo
Mulimu bufeeza obwekwese muli
Ndowooza bu zaabu bwebwagafuula bwegatyo

Amaaso g'otulo
Galimu ekimansuka
Ekikutuuyanya galimu ekibuguma
Wansi w'enjuba galimu ekimyanso
Aaaaaahh maaso ago
Amaaso g'otulo
Galimu ekimansuka
Ekikutuuyanya galimu ekibuguma
Wansi w'enjuba galimu ekimyanso
Aaaaaahh maaso ago

Amaaso g'otulo (gontunuliza)
Amaaso g'otulo (gansikiriza)
Amaaso g'otulo (gontunuliza)
Amaaso g'otulo (goloola)
Amaaso g'otulo (gemoola)
Maama moola
Amaaso g'otulo amaaso g'otulo
Amaaso g'otulo amaaso g'otulo
Amaaso g'otulo amaaso g'otulo
Amaaso g'otulo amaaso g'otulo