Wandiikira ko akawulukutu akaluma m'atumbi, kale
Kyakakirako akavunza akato, akakusiwa ng'emambya tesala
N'otalumibwa ki-wound kya mukwano, kisiwa ng'ekiyiwemu omunnyo
Gwe wama omukwano guluma, gutusuza ku tebukye
Naddala nga gw'oyagala akwewala, akuli wala
Mu birooto anti no mudingana, lw'otomulabyeko nga tewebaka
Ebirowoozo n'omutima nga yabyefuga, nakulekamu gwe kalozolera
Omuntu ng'oyo aba yakutwala, ooh yo
Ekyo kyebayita addiction omuntu omwagala, sorrow portion
Nkuvunaana lwa mutima gwange, kale okugwefuga oh (nkuvunaana)
Mu birooto byange mw'osalimbira bwenebaka, nakyo (nkuvunaana)
Otulo ne tubula, emmere nesirya kuba gwe (nkuvunaana)
Nkuvunaana lwa mutima gwange kuguganira, oh (nkuvunaana)
Unhaa, mmm
Singa omutima yali glass, wandi gulabye munda
Munda muli mwewegirisiza, ng'ekigo ky'entula
Odamuli ontula butebe, no kiza nyinimu entanama
Ate wagenda n'onsensera mu musaayi, nkuwulira muli oserengeta
Nakwazika mutima kunziriza, kati gwe wesomye oyagala guganira
Otere ondek'awo kiwuduwudu naye nga lwaki, kal'ombonyabonya
Okukwagala sakola nsobi, wabula nakutegera
Nze nawe tugolobe buyuba, kuba obusanafu busenguka
Bw'oba balugu laba nze mutuba, ofunye kwewekwata
Nkuvunaana lwa mutima gwange, kale okugwefuga oh (nkuvunaana)
Mu birooto byange mw'osalimbira bwenebaka, nakyo (nkuvunaana)
Otulo ne tubula, emmere nesirya kuba gwe (nkuvunaana)
Nkuvunaana lwa mutima gwange kuguganira, oh (nkuvunaana)
Otulo tubula, ne ntula ne ndozoleera eyo oo-ooh
Yegw'ankola bino byendi, nga sikyetegera naye (nkuvunaana)
Wadira omutima nogutwala waleka kiwuduwudu, eno ewange (nkuvunaana)
Nkulowozako everyday, love you night and day naye (nkuvunaana)
Do you think of me cause I think of you, everyday (nkuvunaana)
You're in my future, my everything, you baibe (nkuvunaana)
Wandya omutima n'obwongo, Ebirowoozo n'otwala gy'oli (nkuvunaana)
Yegwe njagala, kuba gwe antegera naye (nkuvunaana)
Omukwano gunuma, wotali dear lwaki (nkuvunaana)