0:00
3:02
Now playing: Gwavawa

Gwavawa Lyrics by Pallaso


Ah wombolombo wombolombo wombolombo (dear we)
Ah Wombolombo wombolombo wombolombo
Ah wombolombo wombolombo wombolombo (dear we)
Ah wombolombo
Ah wombolombo (E-E-Eddie Dee)
Mukwano gwange bambi oli otya olwaleero?
Bakuwaddeko ku mazzi n'onywako?
Bakuyisa batya mukwano wessibadde?
Nze omanyi nti onsingira ensi n'ebisembayo
Gwava wa omukwano gwava wa?
Guno oguwooma n'oba nga sukaali tonyumya?
Ogunkyamula n'obuyimba ne nkuyimbira
Ne nneeresa okulya obulabo ne nkutonera
Nze mukwano njagala omanye nakwesigaliza
Munda mutima ndi munno wo
Bwe guba mubiri ku mubiri binyuma
Bulamu bunyuma ng'obulya ne munno wo
Gwava wa?
Guno oguwooma ng'omubissi gwava wa?
Ggwe wabulira wa bulijjo gye mbeera?
Njagala nkutwale ewaffe
Gye nzaalibwa bakumanye
Oh my God!
Ate obulungi bwo nabwo bwasoba
Amaaso gaaka nga enjuba
Adam tumunenya kulya kibala
Yakemebwa nnyo oh my God
Ndi muzzukulu wa Lule e Gyava
Nga ggwe gwe nsiimye onkuumeko ewaka
Laba ndi waddala baby teweebaka
Zuukuka, teweebaka
Nze baali n'omutima gwange baamenya
Wajja eno nze olwo emirembe ne nfuna
You're my dream come true baby ky'ekyo
Ebintu by'ebyo
Gwava wa omukwano gwava wa?
Guno oguwooma n'oba nga sukaali tonyumya?
Ogunkyamula n'obuyimba ne nkuyimbira
Ne nneeresa okulya obulabo ne nkutonera
Gwava wa?
Guno oguwooma nga omubissi gwava wa?
Ggwe wabulira wa bulijjo gye mbeera?
Njagala nkutwale ewaffe
Gye nzaalibwa bakumanye
Oh my God
Ate obulungi bwo nabwo bwasoba
Amaaso gaaka nga enjuba
Adam tumunenya kulya kibala
Yakemebwa nnyo oh my God
Ndi muzzukulu wa Lule e Gyava
Nga ggwe gwe nsiimye onkuumeko ewaka
Laba ndi waddala baby teweebaka
Zuukuka, teweebaka
Nagambanga nkusobola mbu nneepika
Ŋŋenda kukwagala mpite ne we nsula
Guno nze gwe nnina tebannagulaba
Ggwe tofa ku kasente
Gwava wa omukwano gwava wa?
Guno oguwooma n'oba nga sukaali tonyumya?
Ogunkyamula n'obuyimba ne nkuyimbira
Ne nneeresa okulya obulabo ne nkutonera
Gwava wa?
Guno oguwooma ng'omubissi gwava wa?
Ggwe wabulira wa bulijjo gye mbeera?
Njagala nkutwale ewaffe
Gye nzaalibwa bakumanye
Oh my God
Herbert Skillz pon The Run
Ate obulungi bwo nabwo bwasoba
Amaaso gaaka nga enjuba
Adam tumunenya kulya kibala
Yakemebwa nnyo oh my God

Pallaso Singles