0:00
3:02
Now playing: Asiya

Asiya Lyrics by Kenneth Mugabi


Yejjusa ekyamutwala e mitala wa mayanja
Byatandika ne kirooto ekyokuzimbira maama e nnyumba
Mikwano gye egyisinga alaba gyifunye
Kwe kunoonyeza omukisa gwe mu malagala
Byeyali alina byonna yali abitunze
Agobe omukisa gwalaba mu malaba
Kati agamba afunda noyo ow′ewaka
Bulijjo amusiiya
Asiya
Embeera Emusajjuseeko
Ooh Asiya
Kati agamba afunda noyo ow'ewaka
Bulijjo amusiiya
Asiya
Embeera Emusajjuseeko
Ooh Asiyaaa Asiya
Byeyasoma alaba tebimugasa
Yali asanyusa muzeeyi na kipapapula
Ebirooto ebimubuza otulo mu kibira
Gyeyatunda omwoyo gwe ku lwa Magala
Mikwano gye egyisinga gyiyita bukunya
Gyefuga omutimbagano mu kututumuka
Abandimuyambye nabo bamwesamba
Byanfuna mu buddu nabo mwebakkutira
Kati agamba afunda noyo ow′ewaka
Bulijjo amusiiya
Asiya
Embeera Emusajjuseeko
Ooh Asiya
Kati agamba afunda noyo ow'ewaka
Bulijjo amusiiya
Asiya
Embeera Emusajjuseeko
Ooh Asiya