Gano amaviivi tegalimenyeka
Kusinza Katonda mulala uh
Nze kuba manyi nti
Bonna obakira aah
Na gino emimwa tegiriyasama
Ah kuyimbira Katonda mulala
Kuba manyi nti
Ne kino ekitone gwe akigaba
Kati nkusinze ntya?
Nnyimbe ntya omanye nti nkwagala kufa?
Yeggwe madaala
Kwe mpalampira dear okutuuka gye ndaga
Hmmm, ekisa kyondaga
Nze kimpa buvumu daddy okuwangula
Ge maanyi ge nina
Ageewunyisa abalabe abeewaga
Kati ntukuliza ebigere byange
Ogaziye ensalo zange
Fuka amafuta ku lulimi lwange
Nga bwe nkusinza gankomako